1
Olubereberye 22:14
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
Ibulayimu n'atuuma ekifo ekyo erinnya Yakuwayire; nga bwe kyogerwa ne leero ku lusozi luno nti, “Mukama agaba.”
Compare
Explore Olubereberye 22:14
2
Olubereberye 22:2
N'amugamba nti, “Twala kaakano omwana wo, omwana wo omu, gw'oyagala, ye Isaaka, ogende mu nsi Moliya; omuweere eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku lumu ku nsozi lwe ndikugambako.”
Explore Olubereberye 22:2
3
Olubereberye 22:12
N'agamba nti, “Totta mulenzi, so tomukolako kabi; kubanga kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu.”
Explore Olubereberye 22:12
4
Olubereberye 22:8
Ibulayimu n'amuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa.” Ne beyongerayo bombi.
Explore Olubereberye 22:8
5
Olubereberye 22:17-18
ddala ndikuwa omukisa, era ndikuwa ezzadde ddene, liriba ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, era ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Era ezzadde lyo liriwangula abalabe baabwe. era mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange.”
Explore Olubereberye 22:17-18
6
Olubereberye 22:1
Awo oluvannyuma lw'ebyo, Katonda n'ageza Ibulayimu, n'amugamba nti, “Ibulayimu;” n'addamu nti, “Nze nzuuno.”
Explore Olubereberye 22:1
7
Olubereberye 22:11
Naye malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'ayima mu ggulu, ng'ayogera nti, “Ibulayimu, Ibulayimu;” n'ayogera nti, “Nze nzuuno.”
Explore Olubereberye 22:11
8
Olubereberye 22:15-16
Awo malayika wa Mukama n'ayita Ibulayimu omulundi ogwokubiri ng'ayima mu ggulu, n'ayogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Ndayira mu linnya lyange, olw'okubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo omu yekka
Explore Olubereberye 22:15-16
9
Olubereberye 22:9
Ne batuuka mu kifo Katonda we yamugamba; Ibulayimu n'azimba ekyoto, n'atindikirako enku, n'alyoka asiba Isaaka omwana we, n'amugalamiza ku nku eziri ku kyoto.
Explore Olubereberye 22:9
Home
Bible
Plans
Videos