YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 22

22
Katonda ageza Ibulayimu
1Awo oluvannyuma lw'ebyo, Katonda n'ageza Ibulayimu, n'amugamba nti, “Ibulayimu;” n'addamu nti, “Nze nzuuno.”#Beb 11:17-19, Yak 1:12 2N'amugamba nti, “Twala kaakano omwana wo, omwana wo omu, gw'oyagala, ye Isaaka, ogende mu nsi Moliya; omuweere eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku lumu ku nsozi lwe ndikugambako.”#2 Byom 3:1 3Ibulayimu n'agolokoka enkya ku makya, n'assa amatandiiko ku ndogoyi ye, n'atwala babiri ku bavubuka be, ne Isaaka omwana we; n'ayasa enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'agolokoka, n'agenda mu kifo Katonda kye yamugambako. 4Ku lunaku olwokusatu Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge, n'alengera ekifo. 5Ibulayimu n'agamba abavubuka be nti, “Mubeere mmwe wano n'endogoyi, nze n'omulenzi tugenda eri tusinze, n'oluvannyuma tunadda gye muli.” 6Ibulayimu n'addira enku ez'okwokya ekiweebwayo n'azitikka Isaaka omwana we, ye n'atwala omuliro n'akambe; bombi ne bagenda.#Yok 19:17 7Isaaka n'ayita Ibulayimu, kitaawe nti, “Kitange!” N'addamu nti, “Nze nzuuno, mwana wange.” Isaaka n'amubuuza nti, “Laba, omuliro n'enku biibino; naye omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?” 8Ibulayimu n'amuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa.” Ne beyongerayo bombi.#Yok 1:29,36, 1 Peet 1:19 9Ne batuuka mu kifo Katonda we yamugamba; Ibulayimu n'azimba ekyoto, n'atindikirako enku, n'alyoka asiba Isaaka omwana we, n'amugalamiza ku nku eziri ku kyoto.#Yak 2:21 10Ibulayimu n'agolola omukono gwe, n'akwata akambe okutta omwana we. 11Naye malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'ayima mu ggulu, ng'ayogera nti, “Ibulayimu, Ibulayimu;” n'ayogera nti, “Nze nzuuno.” 12N'agamba nti, “Totta mulenzi, so tomukolako kabi; kubanga kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu.”#Lub 26:5, 1 Sam 15:22, Mi 6:6,8 13Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge n'amagamaga, n'alaba emabega we endiga ensajja ng'amayembe gaayo gawagamidde mu kisaka. 14Ibulayimu n'atuuma ekifo ekyo erinnya Yakuwayire;#22:14: Yakuwayire Mu Lwebbulaniya kitegeeza nti “Mukama yampa.” nga bwe kyogerwa ne leero ku lusozi luno nti, “Mukama agaba.”
15Awo malayika wa Mukama n'ayita Ibulayimu omulundi ogwokubiri ng'ayima mu ggulu, 16n'ayogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Ndayira mu linnya lyange, olw'okubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo omu yekka;#Zab 105:9, Luk 1:73, Beb 6:13 17ddala ndikuwa omukisa, era ndikuwa ezzadde ddene, liriba ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, era ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Era ezzadde lyo liriwangula abalabe baabwe.#Lub 13:16; 15:5; 24:60, Yer 33:22, Beb 6:14 18era mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange.”#Lub 12:3; 22:3; 26:5, Bag 3:8 19Awo Ibulayimu n'addayo eri abavubuka be, ne basituka ne bagendera wamu bonna e Beeruseba; Ibulayimu n'abeeranga eyo.
Abaana ba Nakoli
20Oluvannyuma lw'ebyo ne babuulira Ibulayimu nti, “Mirika yazaalira muganda wo Nakoli abaana:#Lub 11:29 21Uzi ye mubereberye, ne kuddako Buzi, ne Kemweri, kitaawe wa Alamu; 22Kesedi, Kaazo, Pirudaasi, Yidulaafu, ne Bessweri.” 23Bessweri n'azaala Lebbeeka; abo be baana omunaana Mirika be yazaalira Nakoli, muganda wa Ibulayimu.#Lub 24:15 24Lewuma, omuzaana wa Nakoli, naye n'azaala: Teba, Gakamu, Takasi, ne Maaka.

Currently Selected:

Olubereberye 22: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in