Olubereberye 21
21
Okuzaalibwa kwa Isaaka
1Mukama n'atuukiriza byonna bye yasuubiza Saala.#Lub 17:19; 18:10, 1 Sam 2:21 2Saala n'aba olubuto, n'azaalira Ibulayimu omwana ow'obulenzi; Ibulayimu ng'akaddiye, mu biro ebyo ebyateekebwawo Katonda bye yamugambako.#Lub 17:19; 18:10, Beb 11:11 3Ibulayimu n'atuuma omwana oyo erinnya Isaaka.#21:3: Isaaka Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Aseka.”#Lub 17:19 4Ibulayimu n'akomola omwana we Isaaka, ng'awezezza ennaku munaana, nga Katonda bwe yamulagira.#Lub 17:10-12, Bik 7:8 5Ibulayimu yali awezezza emyaka kikumi (100), omwana we Isaaka bwe yamuzaalirwa.#Lub 17:17 6Saala n'ayogera nti, “Katonda ansesezza; buli anaawuliranga anaasekeranga wamu nange.”#Is 54:1, Luk 1:14,58 7N'ayogera nti, “Ani oyo eyandigambye Ibulayimu nti Saala aliyonsa abaana be? Naye laba kati, muzaalidde omwana ow'obulenzi ng'ankaddiye.” 8Omwana n'akula, n'ava ku mabeere; Ibulayimu n'afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaviirako ku mabeere.
Agali ne Isimaeri bagobebwa
9Saala n'alaba omwana wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu, ng'azannya ne Isaaka.#Lub 16:1,15, Bag 4:29 10Kyeyava agamba Ibulayimu nti, “Goba omuzaana ono n'omwana we kubanga omwana w'omuzaana ono tajja kubeera musika wamu n'omwana wange, Isaaka.”#Bag 4:30 11N'ekigambo ekyo ne kiba kizibu nnyo eri Ibulayimu olw'omwana we Isimaeri. 12Katonda n'agamba Ibulayimu nti, “Kireme okuba ekizibu gy'oli, olw'omulenzi, n'olw'omuzaana wo. Mu byonna Saala by'anaakubuuliranga, owuliranga eddoboozi lye; kubanga mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaamanyirwanga.#Bar 9:7, Beb 11:18 13Era n'omwana w'omuzaana ndimufuula eggwanga, kubanga naye zzadde lyo.”#Lub 16:10 14Ibulayimu n'agolokoka enkya ku makya, n'addira emmere n'ensawo ey'eddiba ey'amazzi, n'abiwa Agali, n'abissa ku kibegabega kye, n'omwana, n'amugamba agende. Awo Agali n'agenda, ng'abungeetera mu ddungu ery'e Beeruseba. 15Amazzi ag'omu ddiba ne gaggwaamu, n'azazika omwana wansi w'ekisaka ekimu. 16N'agenda, walako ebbanga ng'akasaale we kagwa; n'atuula wansi ng'amutunuulira, kubanga yayogera nti, “Saagala kulaba omwana wange ng'afa.” N'atuula wansi ng'amutunuulira, n'akaaba n'eddoboozi eddene. 17Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi; era malayika wa Katonda n'ayita Agali ng'ayima mu ggulu, n'amugamba nti, “Obadde ki, Agali? Totya; kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi w'ali. 18Situka ositule omulenzi, omukwate mu mikono gyo; kubanga ndimufuula eggwanga eddene.”#Lub 21:13 19Katonda n'azibula amaaso ga Agali, n'alaba oluzzi, n'agenda, n'ajjuza eddiba amazzi, n'anywesa omulenzi.#Kubal 22:31, 2 Bassek 6:17, Luk 24:16 20Katonda n'aba wamu n'omulenzi, n'akula; n'atuulanga mu ddungu, n'afuuka omulasi w'obusaale.#Lub 16:12 21N'atuulanga mu ddungu ery'e Palani; ne nnyina n'amuwasiza omukazi mu nsi y'e Misiri.
Ibulayimu akola endagaano ne Abimereki
22Awo mu biro ebyo Abimereki ne Fikoli omukulu w'eggye ne bagamba Ibulayimu nti, “Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola;#Lub 20:2; 26:1,26,28; 18:10 23kale nno, ndayirira wano mu maaso ga Katonda nga tonkuusekuusenga nze, newakubadde omwana wange, newakubadde omwana w'omwana wange; nga nze bwe nkukoledde eby'ekisa, naawe on'onkoleranga bw'otyo nze, n'ensi gy'olimu.”#Lub 20:14 24Ibulayimu n'ayogera nti, “Nnaalayira.” 25Ibulayimu neyeemulugunyiza Abimereki olw'oluzzi abaddu ba Abimereki lwe baamuggyako olw'amaanyi.#Lub 26:15-22 26Abimereki n'ayogera nti, “Simumanyi eyakola bw'atyo; so naawe tombuulirangako, era siwulirangako okuggyako leero.” 27Ibulayimu n'awa Abimereki endiga n'ente, ne balagaana endagaano bombi.#Lub 26:28-31 28Ibulayimu n'ayawulako endiga enduusi musanvu ez'omu kisibo n'aziteeka zokka. 29Abimereki n'abuuza Ibulayimu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu z'oyawuddeko awamu zokka, amakulu gakyo ki?” 30N'addamu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu zitwale, zibeere obujulirwa obukakasa nti nze n'asima oluzzi olwo.” 31Kyeyava ayita ekifo ekyo Beeruseba;#21:31 Beeruseba Mu Lwebbulaniya litegeeza “Oluzzi olw'obweyamo” oba “Oluzzi olw'omusanvu” kubanga eyo gye baalayirira bombi.#Lub 26:33 32Bwe batyo ne balagaanira endagaano mu Beeruseba; Abimereki n'agolokoka ne Fikoli omukulu w'eggye lye, ne baddayo mu nsi ey'Abafirisuuti. 33Ibulayimu n'asimba omuti omumyulira mu Beeruseba, n'asinziza eyo erinnya lya Mukama, Katonda ataggwaawo.#Lub 4:26; 12:8, Is 40:28 34Ibulayimu n'amala ennaku nnyingi mu nsi ey'Abafirisuuti.
Currently Selected:
Olubereberye 21: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.