1
Olubereberye 24:12
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
N'ayogera nti, “Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ompe, nkwegayiridde, omukisa leero, olage ekisa mukama wange Ibulayimu.
Compare
Explore Olubereberye 24:12
2
Olubereberye 24:14
kale kibeere bwe kiti; omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde, ssa ensuwa yo ompe ku mazzi nnywe;’ n'agamba nti, ‘nywa, era n'eŋŋamira zo n'azisenera nezinywa;’ abeera nga ye oyo gw'olondedde omuddu wo Isaaka. Ekyo kwe naategeerera ng'okoledde mukama wange eby'ekisa.”
Explore Olubereberye 24:14
3
Olubereberye 24:67
Isaaka n'atwala Lebbeeka mu weema eyali eya Saala nnyina, okuba mukazi we. Isaaka n'amwagala; n'akubagizibwa, nnyina ng'amaze okufa.
Explore Olubereberye 24:67
4
Olubereberye 24:60
Ne basabira Lebbeeka omukisa, nga bagamba nti, “Mwannyinaffe, beeranga nnyina w'abantu emitwalo n'enkumi, n'ezzadde lyo liwangulenga abalabe baabwe.”
Explore Olubereberye 24:60
5
Olubereberye 24:3-4
nkulayize Mukama Katonda w'eggulu n'ensi, nga toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Bakanani be ntuulamu; naye ogendanga mu nsi gye nnazaalibwamu eri baganda bange, n'owasiza eyo omwana wange Isaaka omukazi.”
Explore Olubereberye 24:3-4
Home
Bible
Plans
Videos