1
Olubereberye 25:23
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
Mukama n'amugamba nti, “Amawanga abiri gali mu lubuto lwo, N'ebika ebibiri biryawukana n'okuva mu byenda byo: N'eggwanga erimu linaasinganga eggwanga eddala amaanyi; N'omukulu anaaweerezanga omuto.”
Compare
Explore Olubereberye 25:23
2
Olubereberye 25:30
Esawu n'agamba Yakobo nti, “Ndiisa, nkwegayirira, omugoyo ogwo omumyufu; kubanga sirina maanyi.” Kyebaava bamuyita Edomu.
Explore Olubereberye 25:30
3
Olubereberye 25:21
Isaaka ne yeegayiririra Mukama mukazi we, kubanga yali mugumba: Mukama n'awulira okwegayirira kwe, ne Lebbeeka mukazi we n'aba olubuto.
Explore Olubereberye 25:21
4
Olubereberye 25:32-33
Esawu n'ayogera nti, “Laba, mbulako katono okufa; n'eby'obukulu biringasa bitya?” Yakobo n'amugamba nti, “Ndayirira leero,” n'amulayirira, Esawu n'aguza Yakobo eby'obukulu bwe.
Explore Olubereberye 25:32-33
5
Olubereberye 25:26
Muganda we n'amuddirira n'avaamu, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; n'erinnya lye ne bamutuuma Yakobo; era Isaaka yali awezezza emyaka nkaaga (60), mukazi we bwe yabazaala.
Explore Olubereberye 25:26
6
Olubereberye 25:28
Era Isaaka n'ayagala Esawu, kubanga yalyanga ku muyiggo gwe; ne Lebbeeka n'ayagala Yakobo.
Explore Olubereberye 25:28
Home
Bible
Plans
Videos