Yakobo ne yeeyama obweyamo, ng'ayogera nti, “Katonda bw'anaabanga awamu nange era bw'anankuumiranga mu kkubo lino lye ŋŋendamu, era bw'anaampanga emmere ey'okulya, n'engoye ez'okwambala, n'okudda ne nzira mu nnyumba ya kitange n'emirembe, Mukama n'alyoka abeera Katonda wange, n'ejjinja lino, lye nsimbye okuba empagi, liriba ennyumba ya Katonda; era ku byonna by'on'ompanga siiremenga kukuwa ggwe ekitundu eky'ekkumi.”