Isaaka kitaawe n'amusabira nti,
“Laba, ennyumba yo eneebanga ya bugimu bwa nsi,
Era ya musulo oguva mu ggulu waggulu;
N'ekitala kyo kye kinaakuwanga
obulamu, era onooweerezanga muganda wo;
Era olulituuka bw'olyesumattula,
Oryeyambula ekikoligo kye okuva mu bulago bwo.”