Olubereberye 27
27
Isaaka asabira Yakobo omukisa
1Awo olwatuuka Isaaka bwe yamala okukaddiwa, n'amaaso ge nga gayimbadde n'okuyinza nga takyayinza kulaba bulungi, n'ayita Esawu omwana we omubereberye, n'amugamba nti, “Mwana wange;” n'amuddamu nti, “Nze nzuuno.”#Lub 48:10, 1 Sam 3:2 2N'ayogera nti, “Laba nno, nze nkaddiye, simanyi lunaku lwe ndifiirako. 3Kale kaakano nkwegayirira, ddira by'oyizza; ensawo yo n'omutego gwo, ogende mu nsiko, onjiggire omuyiggo;#Lub 25:27,28 4era onfumbire ennyama ey'akawoowo, nga bwe njagala, ogindeetere ndye; obulamu bwange bukusabire omukisa nga sinnafa.”#Lub 27:9,10; 48:9,15; 49:28 5Lebbeeka n'awulira Isaaka ng'ayogera ne Esawu omwana we. Esawu n'agenda mu nsiko okuyigga omuyiggo, n'okuguleeta. 6Lebbeeka n'agamba Yakobo omwana we nti, “Laba, mpulidde kitaawo ng'agamba Esawu muganda wo nti, 7‘Ndeetera omuyiggo, onnongooseze ennyama ey'akawoowo, ndye, nkusabire omukisa mu maaso ga Mukama nga sinnafa.’ 8Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange era okole ebyo bye nkulagira. 9Genda kaakano mu kisibo ky'embuzi, ondetereyo ebuzi ento bbiri; nange nnaazirongooseza kitaawo okuba ennyama ey'akawoowo, nga bw'ayagala; 10naawe onoogitwalira kitaawo, alye, alyoke akusabire omukisa nga tannafa.”#Lub 27:14 11Yakobo n'agamba Lebbeeka nnyina nti, “Laba, Esawu muganda wange musajja wa bwoya, so nga nze omubiri gwange muweweevu.#Lub 25:25 12Mpozzi kitange anaampeeweetako, ne nfaanana ng'omulimba gy'ali, era nneneereetako okukolimirwa, mu kifo ky'omukisa.”#Lub 27:22, Ma 27:18 13Nnyina n'amugamba nti, “Okukolimirwa kwo kubeere ku nze, mwana wange; wulira kye ŋŋamba ogende ondeetere embuzi ze nkutumye.”#Lub 27:8, 1 Sam 25:24, 2 Sam 14:9 14N'agenda, n'azikima, n'azireetera nnyina; ne nnyina n'afumba ennyama ey'akawoowo nga kitaawe wa Yakobo bwe yayagala. 15Lebbeeka n'addira ebyambalo ebirungi ebya Esawu omwana we omubereberye, ebyali naye mu nnyumba, n'abyambaza Yakobo, omwana we omuto;#Lub 27:27 16n'ateeka amaliba g'embuzi ento ku mikono gya Yakobo ne ku nsingo awaweweevu. 17N'awa omwana we Yakobo ennyama ey'akawoowo n'emmere bye yali afumbye.
18Yakobo n'agenda eri kitaawe, n'ayogera nti, “Kitange” N'addamu nti, “Nze nzuuno; ggwe ani, mwana wange?” 19Yakobo n'agamba kitaawe nti, “Nze Esawu omwana wo omubereberye; era nkoze nga bwe wandagidde; golokoka, nkwegayirira, otuule olye ku muyiggo gwange, olyoke onsabire omukisa.” 20Isaaka n'agamba omwana we nti, “Kiki ekikugulabisizza amangu bwe kityo, mwana wange?” N'ayogera nti, “Kubanga Mukama Katonda wo ambedde.” 21Isaaka n'agamba Yakobo nti, “Sembera, nkwegayiridde, nkuweeweeteko, mwana wange, oba ggwe mwana wange Esawu ddala ddala, nantiki si ye ggwe.”#Lub 27:12 22Yakobo n'asemberera Isaaka kitaawe; n'amuweeweetako, n'ayogera nti, “Eddoboozi ly'eddoboozi lya Yakobo, naye engalo z'engalo za Esawu.” 23N'atamutegeera bulungi, kubanga engalo ze zaaliko obwoya, ng'engalo za muganda we Esawu; kale n'amusabira omukisa.#Lub 27:16, Beb 11:20 24N'ayogera nti, “Ggwe mwana wange Esawu ddala ddala?” N'ayogera nti, “Nze nzuuno.” 25N'ayogera nti, “Gunsembereze, nange n'alya ku muyiggo ogw'omwana wange, ndyoke nkusabire omukisa.” N'agusembeza gy'ali, n'alya; n'amuleetera n'omwenge n'anywa.#Lub 27:10 26Kitaawe Isaaka n'amugamba nti, “Sembera kaakano, onnywegere, mwana wange.” 27N'asembera, n'amunywegera; n'awulira akaloosa k'ebyambalo bye, n'amusabira omukisa, n'ayogera nti,
“Laba, akaloosa ak'omwana wange
Kaliŋŋaanga akaloosa ak'ennimiro Mukama gy'awadde omukisa!#Lub 27:15, Kos 14:6, Beb 6:7
28Era Katonda akuwenga ku musulo oguva mu ggulu,
Ne ku bugimu obw'ensi,
N'eŋŋaano nnyingi n'omwenge mungi;#Ma 33:13,28, 2 Sam 1:21, Yo 2:19, Zek 8:12
29Abantu bakuweerezenga
N'amawanga gakuvuunamirenga;
Ofugenga baganda bo,
N'abaana ba nnyoko bakuvuunamirenga;
Akolimirwenga buli akukolimira,
Era aweebwenga omukisa buli akusabira omukisa.”#Lub 12:3; 49:8, 2 Sam 8:14
Esawu Yeegayirira Aweebwe Omukisa
30Awo olwatuuka, Isaaka bwe yali nga kyajje amale okusabira Yakobo omukisa, ne Yakobo ng'akyaliwo, nga tannaviira ddala awali Isaaka kitaawe, Esawu muganda we, n'alyoka ayingira ng'avudde okuyigga. 31Era n'afumba ennyama ey'akawoowo, n'agireetera kitaawe; n'agamba kitaawe nti, “Kitange golokoka olye ku muyiggo ogw'omwana wo, olyoke omusabire omukisa” 32Isaaka kitaawe n'amugamba nti, “Ggwe ani?” N'ayogera nti, “Nze Esawu, omwana wo, omubereberye.” 33Isaaka n'akankana nnyo nnyini; n'ayogera nti, “Kale ani oyo eyayizze omuyiggo n'agundeetera? Nange ndidde ku byonna nga tonnajja, ne musabira omukisa, era aguweereddwa.”#Kubal 23:20 34Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe, n'akaaba nnyo n'eddoboozi eddene ng'anakuwadde. N'agamba kitaawe nti, “Ayi kitange, nange nsabira.”#Beb 12:17 35N'ayogera nti, “Muganda wo azze wano n'animba, era akuggyeko omukisa gwo.” 36N'ayogera nti, “Kyeyava atuumibwa Yakobo?#27:36: Yakobo Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Akwata ekisinziiro” oba “Aly'azaamanya.” Kubanga guno omulundi gwa kubiri ng'annyingirira mu byange. Laba yanzigyako eby'obukulu bwange, ate ne kaakano anzigyeko omukisa gwange!” N'agamba kitaawe nti, “Tonterekeddeyo nange mukisa?”#Lub 25:26,33 37Isaaka n'addamu n'agamba Esawu nti, “Laba, mmuwadde okukufuganga ggwe, ne baganda be bonna mbamuwadde okumuweerezanga; era mmujjanjabye n'eŋŋaano n'omwenge; kale kiki kye nnaakukolera ggwe, mwana wange?”#Lub 27:28,29 38Esawu n'agamba kitaawe nti, “Olina omukisa gumu gwokka, kitange? Nkwegayiridde, nange nsabira” Esawu n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba.#Beb 12:17
39Isaaka kitaawe n'amusabira nti,
“Laba, ennyumba yo eneebanga ya bugimu bwa nsi,
Era ya musulo oguva mu ggulu waggulu;#Lub 36:6,7
40N'ekitala kyo kye kinaakuwanga
obulamu, era onooweerezanga muganda wo;
Era olulituuka bw'olyesumattula,
Oryeyambula ekikoligo kye okuva mu bulago bwo.”#Lub 25:23, 2 Bassek 8:20,22
41Esawu n'akyawa Yakobo olw'omukisa kitaawe gwe yamusabira; Esawu n'ayogera mu mutima gwe nti, “Ennaku ez'okukaabira kitange ng'afudde bwe zirituuka ne ndyoka nzita muganda wange Yakobo.” 42Ne babuulira Lebbeeka ebigambo bya Esawu omwana we omubereberye; n'atuma n'ayita Yakobo omwana we omuto, n'amugamba nti, “Laba, muganda wo Esawu, mu bigambo byo, yeesanyusa, ng'ateesa okukutta. 43Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange; golokoka, oddukire eri Labbaani mwannyinaze mu Kalani; 44Obeere naye okumala ekiseera, okutuusa obusungu bwa muganda wo lwe bulikkakkana, 45nga yeerabidde kye wamukola. Olwo ndikutumira n'olyoka okomawo. Ssaagala kubafiirwa mwembi ku lunaku lumu.”
46Lebbeeka n'agamba Isaaka nti, “Obulamu bwange bwetamiddwa abakazi Abakiiti; Yakobo bw'aliwasa omukazi omukiiti, ndiba sikyasaana kuba mulamu.”#Lub 26:34,35
Currently Selected:
Olubereberye 27: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.