Olubereberye 26
26
1Ne wagwa enjala mu nsi, endala so si eyo eyolubereberye eyagwa mu nnaku za Ibulayimu. Isaaka n'agenda eri Abimereki kabaka wa Abafirisuuti mu Gerali.#Lub 12:10; 20:2 2Mukama n'amulabikira, n'ayogera nti, “Toserengeta mu Misiri; tuula mu nsi gye nnakugambako:#Lub 12:1 3beera mu nsi eno, nange nnaabeeranga wamu naawe, era nnaakuwanga omukisa; kubanga ggwe n'ezzadde lyo ndibawa mmwe ensi zino zonna, era naanywezanga ekirayiro kye nnalayirira Ibulayimu kitaawo;#Lub 13:15; 22:16-18; 28:15 4era nnaayazanga ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, era ndiwa ezzadde lyo ensi zino zonna; ne mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa;#Lub 12:3; 15:5, Kuv 32:13 5kubanga Ibulayimu yawuliranga eddoboozi lyange, ne yeekuumanga bye nnamukuutiranga, ebigambo byange, amateeka gange, n'ebiragiro byange.”#Lub 22:18
6Isaaka n'atuula mu Gerali; 7abasajja baayo ne bamubuuza ku mukazi we; n'ayogera nti, “Ye mwannyinaze,” kubanga yatya okwogera nti, “Mukazi wange;” abasajja baayo baleme okumutta olwa Lebbeeka mukazi we, kubanga yali mulungi nnyo mu ndabika ye.#Lub 12:13; 20:2; 24:16, Nge 29:25 8Awo olwatuuka, bwe yali yaakamalayo ebiro bingi, Abimereki kabaka wa Abafirisuuti n'atunula ng'ayima mu ddirisa, n'alaba Isaaka ng'azannyikiriza Lebbeeka, mukazi we. 9Abimereki n'ayita Isaaka, n'ayogera nti, “Laba, mazima oyo mukazi wo; lwaki wayogera nti mwannyoko?” Isaaka n'amugamba nti, “N'ayogera bwe ntyo, kubanga nnalowooza nti nnyinza okuttibwa ku bubwe.” 10Abimereki n'ayogera nti, “Kino kiki ky'otukoze? Omu ku basajja bange yandisuze ne mukazi wo nga tamanyi, n'otuleetera omusango.”#Lub 20:9 11Abimereki n'akuutira abantu bonna, ng'ayogera nti, “Buli anaakwatanga ku musajja oyo oba ku mukazi we wa kuttibwa.” 12Isaaka n'asiga mu nsi eyo, Mukama n'amuwa omukisa, n'afuna mu mwaka ogwo emirundi kikumi (100).#Lub 26:3, Nge 10:22 13Isaaka ne yeyongera okufuna ebintu bingi, n'agaggawala nnyo. 14Yalina embuzi, ente, n'abaddu bangi; Abafirisuuti ne bamukwatirwa obuggya.#Mub 4:4 15Awo Abafirisuuti baali bazibye enzizi zonna abaddu ba Ibulayimu, kitaawe, ze baali basimye era nga bazijjuzizzaamu ettaka.#Lub 21:30 16Abimereki n'agamba Isaaka nti, “Genda, tuveemu; kubanga ofuuse w'amaanyi nnyo okutusinga.” 17Isaaka n'avaayo, n'asimba eweema ze mu kiwonvu eky'e Gerali, n'abeera eyo. 18Isaaka n'ayerula enzizi z'amazzi, ze baasimira mu nnaku za Ibulayimu kitaawe; kubanga Abafirisuuti baaziziba Ibulayimu bwe yamala okufa; n'aziyita amannya gaazo ng'amannya bwe gaali kitaawe ge yazituuma.#Lub 21:31 19Abaddu ba Isaaka ne basima mu kiwonvu, ne bazuula oluzzi olw'amazzi amalungi. 20N'abasumba ab'e Gerali ne bakaayana n'abasumba ba Isaaka, nga boogera nti, “Amazzi gaffe.” Isaaka n'atuuma oluzzi olwo erinnya Eseki;#26:20: Eseki Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Enkaayana.” kubanga baakaayana naye.#Lub 21:25 21Ne basima oluzzi olulala, era nalwo ne balukaayanira, ne balutuuma erinnya Situna.#26:21: Situna Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Obulabe” 22N'avaayo, n'asima oluzzi olulala; olwo ne batalukaayanira; n'alutuuma erinnya Lekobosi;#26:22 Lekobosi Mu Lwebbulaniya litegeeza “Okugaziwa” n'ayogera nti, “Kubanga kaakano Mukama atugaziyizza, naffe tulyalira mu nsi eno.”
23N'avaayo n'ayambuka e Beeruseba. 24Mukama n'amulabikira ekiro ekyo, n'ayogera nti, “Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo; totya, kubanga nze ndi wamu naawe era nnaakuwanga omukisa, era nnaayongeranga ezzadde lyo ku bw'omuddu wange Ibulayimu.”#Lub 15:1; 17:7; 24:12; 28:13,15, Kuv 3:6 25N'azimba eyo ekyoto, n'akoowoola erinnya lya Mukama, n'asimba eyo eweema ye; n'eyo abaddu ba Isaaka ne basimayo oluzzi.#Lub 12:7; 13:18, Zab 116:17
Isaaka akola endagaano ne Abimereki
26Abimereki n'alyoka ava mu Gerali ng'ali wamu ne Akuzaki mukwano gwe, ne Fikoli omukulu w'eggye lye, ne bagenda eri Isaaka.#Lub 21:22 27Isaaka n'abagamba nti, “Kiki ekibaleese gye ndi ng'ate mwankyawa, ne mungoba mu nsi yammwe.”#Lub 26:16, Balam 11:7 28Ne boogera nti, “Tulabidde ddala nga Mukama ali wamu naawe, kye tuva tugamba nti wabeewo obweyamo wakati wo naffe, era tukole endagaano naawe nti,#Lub 21:22,23 29ggwe tootukolengako kabi, nga naffe bwe tutaakukolako kabi. Twakukolera eby'ekisa, ne tukuleka n'ogenda mirembe. Kaakano Mukama ggwe gw'awadde omukisa.”#Lub 24:31 30N'abafumbira embaga, ne balya ne banywa. 31Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bakola endagaano; Isaaka n'abasiibula, ne baawukana mirembe.#Lub 21:31 32Awo olwatuuka ku lunaku olwo, abaddu ba Isaaka ne bajja, ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye, ne bamugamba nti, “ Tuzudde amazzi.” 33N'alutuuma Siba;#26:33 Siba Erinnya lino mu Lwebbulaniya litegeeza “Obweyamo,” oba “Musanvu.” n'erinnya ly'ekibuga ekyo kyeriva liyitibwa Beeruseba #26:33: Beeruseba Erinnya lino mu Lwebbulaniya litegeeza “Oluzzi Olw'obweyamo” oba “Oluzzi Olw'omusanvu” n'okutuusa leero.
Bakazi ba Esawu bannamawanga
34Esawu bwe yali nga ng'awezezza emyaka ana (40) n'awasa Yudisi omwana wa Beeri Omukiiti, ne Basimansi omwana wa Eromi Omukiiti: 35Bakazi ba Esawu bano ne banakuwaza Isaaka ne Lebbeeka.#Lub 27:46; 28:1,8,9
Currently Selected:
Olubereberye 26: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.