1
Okuva 4:11-12
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
MUKAMA n’amuddamu nti, “Ani yakola akamwa k’omuntu? Ani yatonda bakasiru, ne bakiggala, n’abatunula, ne bamuzibe? Si nze, MUKAMA? Kaakano, genda! Nnaakuyambanga ng’oyogera, era nnaakuyigirizanga by’onooyogeranga.”
Compare
Explore Okuva 4:11-12
2
Okuva 4:10
Awo Musa n’agamba MUKAMA nti, “Ayi Mukama wange, siri mwogezi mulungi okuva edda n’edda, wadde ne mu kiseera kino ggwe kaayogerera nange, omuddu wo; njogera nnembeggerera ate nga bwe nnaanaagira.”
Explore Okuva 4:10
3
Okuva 4:14
MUKAMA n’asunguwalira nnyo Musa, n’amugamba nti, “Muganda wo Alooni Omuleevi, taliiwo? Mmanyi nga mwogezi mulungi; era, laba, ajja gy’oli, era bw’anaakulabako ajja kusanyuka mu mutima gwe.
Explore Okuva 4:14