1
Lukka 2:11
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Kubanga Omulokozi, ye Kristo Mukama waffe azaaliddwa leero mu kibuga kya Dawudi.
Compare
Explore Lukka 2:11
2
Lukka 2:10
Malayika n’abagumya nti, “Temutya, kubanga mbaleetedde amawulire amalungi ag’essanyu eringi, era nga ga bantu bonna.
Explore Lukka 2:10
3
Lukka 2:14
“Ekitiibwa kibe eri Katonda Ali Waggulu ennyo. N’emirembe gibe mu nsi eri abantu Katonda b’asiima.”
Explore Lukka 2:14
4
Lukka 2:52
Awo Yesu n’akula mu mubiri, mu magezi, era n’alaba ekisa mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu.
Explore Lukka 2:52
5
Lukka 2:12
Ku kino kwe munaamutegeerera: Mujja kulaba omwana omuwere, ng’abikkiddwa mu ngoye, ng’azazikiddwa mu lutiba lw’ente.”
Explore Lukka 2:12
6
Lukka 2:8-9
Mu kiro ekyo waaliwo abasumba abaali mu kitundu ekyo kye kimu ku ttale nga bakuuma endiga zaabwe. Awo malayika wa Mukama n’abalabikira, ne waakaayakana n’ekitiibwa kya Mukama, ne batya nnyo.
Explore Lukka 2:8-9
Home
Bible
Plans
Videos