nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti,
“Eddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu nti,
Mulongoose ekkubo lya Mukama,
Muluŋŋamye amakubo ge;
Buli kiwonvu kirijjuzibwa,
na buli lusozi n’akasozi birisendebwa,
na buli ekyakyama kirigololwa,
n’obukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ez’omuseetwe.
Abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”