“Noolwekyo mubeere beetegefu kubanga temumanyi ssemaka wakomerawo oba kawungeezi, oba mu ttumbi, oba ng’enkoko zikookolima, oba ng’obudde bukya, si kulwa ng’akomawo nga temumanyiridde, n’abasanga nga mwebase. Kye mbagamba mmwe, kye ŋŋamba buli muntu, mwekuume.”