1
Makko 14:36
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
N’asaba nti, “Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gy’oli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”
Compare
Explore Makko 14:36
2
Makko 14:38
Mutunule musabe, muleme kukemebwa. Omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.”
Explore Makko 14:38
3
Makko 14:9
Ddala ddala mbagamba nti buli kifo kyonna Enjiri gy’eneebuulirwanga mu nsi yonna, ekikolwa ky’omukazi ono kinajjukirwanga era kinaayongerwangako okumujjukiranga.”
Explore Makko 14:9
4
Makko 14:34
N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi nnyo zaagala na kunzita, kale mubeere wano mukuume.”
Explore Makko 14:34
5
Makko 14:22
Awo bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati, ne yeebaza, n’agumenyaamenyamu, n’agabira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mutoole mulye, guno gwe mubiri gwange.”
Explore Makko 14:22
6
Makko 14:23-24
Ate n’addira ekikompe ne yeebaza n’akibawa; bonna ne banywa. N’abagamba nti, “Guno musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi.
Explore Makko 14:23-24
7
Makko 14:27
Yesu n’abagamba nti, “Buli omu ku mmwe ajja kunjabulira, kubanga kyawandiikibwa nti, “ ‘Ndikuba omusumba, endiga ne zisaasaana.’
Explore Makko 14:27
8
Makko 14:42
Musituke! Tugende, laba andyamu olukwe anaatera okutuuka.”
Explore Makko 14:42
9
Makko 14:30
Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti ekiro kya leero, enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onooneegaana emirundi esatu.”
Explore Makko 14:30
Home
Bible
Plans
Videos