Katonda n'amugamba mu kirooto nti, Weewaawo, mmanyi nga wakola ekyo ng'olina omutima omutuukirivu, era nange ne nkuziyiza okunnyonoona: kyennava nnema okukuganya okumukwatako. Kale nno zzaayo mukazi w'omusajja; kubanga ye nnabbi, naye alikusabira naawe oliba mulamu: era bw'otoomuzzeeyo, tegeera nga tolirema kufa, ggwe, n'ababo bonna.