Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi; ne malayika wa Katonda n'ayita Agali ng'ayima mu ggulu, n'amugamba nti Obadde otya, Agali? totya; kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi w'ali. Golokoka, oyimuse omulenzi, omukwate mu ngalo zo; kubanga ndimufuula eggwanga eddene.