1
Olubereberye 22:14
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Ibulayimu n'atuuma ekifo kiri erinnya lyakyo Yakuwayire: nga bwe kyogerwa ne leero nti ku lusozi lwa Mukama kirirabwa.
Compare
Explore Olubereberye 22:14
2
Olubereberye 22:2
N'ayogera nti Twala kaakano omwana wo, omwana wo omu, gw'oyagala, ye Isaaka, ogende mu nsi Moliya; omuweere eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku lumu ku nsozi lwe ndikugambako.
Explore Olubereberye 22:2
3
Olubereberye 22:12
N'ayogera nti Tossa mukono gwo ku mulenzi, so tomukolako kantu: kubanga kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu.
Explore Olubereberye 22:12
4
Olubereberye 22:8
Ibulayimu n'ayogera nti Katonda aneefunira omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa, mwana wange: kale ne bagenda bombi.
Explore Olubereberye 22:8
5
Olubereberye 22:17-18
okukuwa omukisa naakuwanga omukisa, n'okwongera naakwongerangako ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja; era ezzadde lyo balirya omulyango ogw'abalabe baabwe; era mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange.
Explore Olubereberye 22:17-18
6
Olubereberye 22:1
Awo oluvannyuma lw'ebyo, Katonda n'akema Ibulayimu, n'amugamba nti Ibulayimu; n'ayogera nti Nze nzuuno.
Explore Olubereberye 22:1
7
Olubereberye 22:11
Ne malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'ayima mu ggulu, n'ayogera nti Ibulayimu, Ibulayimu: n'ayogera nti nze nzuuno.
Explore Olubereberye 22:11
8
Olubereberye 22:15-16
Ne malayika wa Mukama n'ayita Ibulayimu omulundi ogw'okubiri ng'ayima mu ggulu, n'ayogera nti Nneerayidde nzekka, bw'ayogera Mukama kubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo, omwana wo omu
Explore Olubereberye 22:15-16
9
Olubereberye 22:9
Ne batuuka mu kifo Katonda we yamugamba; Ibulayimu n'azimbira eyo ekyoto, n'atindikira enku, n'asiba Isaaka omwana we, n'amugalamiza ku kyoto, ku nku.
Explore Olubereberye 22:9
Home
Bible
Plans
Videos