1
Lukka 10:19
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Laba, mbawadde obuyinza obw'okulinnyanga ku misota n'enjaba ez'obusagwa, n'amaanyi gonna ag'omulabe: so tewali kintu ekinaabakolanga obubi n'akatono.
Compare
Explore Lukka 10:19
2
Lukka 10:41-42
Naye Mukama waffe n'addamu n'amugamba nti Maliza, Maliza, weeraliikirira, olina emitawaana egy'ebigambo bingi; naye ekyetaagibwa kiri kimu: kubanga Malyamu alonzeewo omugabo ogwo omulungi ogutalimuggibwako.
Explore Lukka 10:41-42
3
Lukka 10:27
N'addamu n'agamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna; ne muliraanwa wo nga ggwe bwe weeyagala wekka.
Explore Lukka 10:27
4
Lukka 10:2
N'abagamba nti Okukungula kwe kungi, naye abakunguzi be batono: kale musabe Mukama w'okukungula okutuma abakunguzi mu kukungula kwe.
Explore Lukka 10:2
5
Lukka 10:36-37
Kale olowooza otya, aluwa ku abo abasatu, eyali muliraanwa w'oyo eyagwa mu batemu? N'agamba nti oli eyamukolera eby'ekisa. Yesu n'amugamba nti Naawe genda okole bw'otyo.
Explore Lukka 10:36-37
6
Lukka 10:3
Mugende: laba, mbatuma mmwe ng'abaana b'endiga wakati mu misege.
Explore Lukka 10:3
Home
Bible
Plans
Videos