1
Lukka 9:23
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
N'abagamba bonna nti Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikkenga omusalaba gwe buli lunaku, angoberere.
Compare
Explore Lukka 9:23
2
Lukka 9:24
Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli alibuza obulamu bwe ku lwange oyo alibulokola.
Explore Lukka 9:24
3
Lukka 9:62
Naye Yesu n'amugamba nti Tewali muntu akwata ekyuma ekirima n'atunula ennyuma asaanira obwakabaka bwa Katonda.
Explore Lukka 9:62
4
Lukka 9:25
Kubanga kulimugasa ki omuntu okulya ensi yonna nga yeebuzizza oba nga yeetunze?
Explore Lukka 9:25
5
Lukka 9:26
Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange, oyo n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi, lw'alijjira mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.
Explore Lukka 9:26
6
Lukka 9:58
Yesu n'amugamba nti Ebibe birina obunnya, n'ennyonyi ez'omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w'omuntu talina w'assa mutwe gwe.
Explore Lukka 9:58
7
Lukka 9:48
n'abagamba nti Buli anaasembezanga omwana omuto ono mu linnya lyange, ng'asembezza nze, na buli anaasembezanga nze, ng'asembezza eyantuma: kubanga asinga obuto mu mmwe mwenna oyo ye mukulu.
Explore Lukka 9:48
Home
Bible
Plans
Videos