1
Lukka 8:15
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
N'ezo ez'omu ttaka eddungi, abo be bawulira ekigambo mu mutima omugolokofu, omulungi, ne bakinyweza, ne babala emmere n'okugumiikiriza.
Compare
Explore Lukka 8:15
2
Lukka 8:14
N'ezo ezaagwa mu maggwa, abo be bawulira, awo bwe bagenda ne baziyizibwa n'okweraliikirira n'obugagga n'essanyu ery'omu bulamu buno ne batatuukiriza kukuza mmere.
Explore Lukka 8:14
3
Lukka 8:13
N'ab'oku lwazi be bawulira ekigambo ne bakikkiriza n'essanyu; kyokka tebalina mmizi, bakikkirizaako kaseera, era mu biro eby'okukemebwa baterebuka.
Explore Lukka 8:13
4
Lukka 8:25
N'abagamba nti Okukkiriza kwammwe kuli luuyi wa? Ne batya ne beewuunya, ne boogeragana bokka na bokka nti Kale ani ono, kubanga n'empewo n'amazzi abiragira ne bimuwulira?
Explore Lukka 8:25
5
Lukka 8:12
Bali ab'oku mabbali g'ekkubo be bawulira; awo Setaani n'ajja n'akwakkula ekigambo mu mitima gyabwe baleme okukkiriza n'okulokolebwa.
Explore Lukka 8:12
6
Lukka 8:17
Kubanga tewali kigambo ekyakisibwa ekitalirabisibwa; newakubadde ekyakwekebwa ekitalimanyibwa ne kirabika mu lwatu.
Explore Lukka 8:17
7
Lukka 8:47-48
Awo omukazi oyo bwe yalaba nga takwekeddwa, n'ajja ng'akankana n'amufukaamirira n'amubuulira mu maaso g'abantu bonna ensonga bw'eri emukomezzaako, ne bw'awonye amangu ago. N'amugamba nti Mwana wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.
Explore Lukka 8:47-48
8
Lukka 8:24
Ne bajja w'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti Mukama waffe, Mukama waffe, tufa. N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga n'okwefuukuula kw'amazzi; ne bikkakkana, n'eba nteefu.
Explore Lukka 8:24
Home
Bible
Plans
Videos