Lukka 8:47-48
Lukka 8:47-48 LUG68
Awo omukazi oyo bwe yalaba nga takwekeddwa, n'ajja ng'akankana n'amufukaamirira n'amubuulira mu maaso g'abantu bonna ensonga bw'eri emukomezzaako, ne bw'awonye amangu ago. N'amugamba nti Mwana wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.