Lukka 8
8
1 #
Luk 4:43
Awo olwatuuka oluvannyumako katono n'atambula mu bibuga ne mu mbuga ng'abuulira ng'atenda enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda, bali ekkumi n'ababiri nga bali naye, 2#Mak 15:40,41; 16:9n'abakazi abaawonyezebwako dayimooni n'endwadde, Malyamu eyayitibwa Magudaleene, eyavaako dayimooni omusanvu, 3ne Yowaana, muka Kuza, omuwanika wa Kerode, ne Susaana, n'abalala bangi abaabaweerezanga n'ebintu bye baalina.
4 #
Mat 13:1-23, Mat 4:1-20 Awo ekibiina ekinene bwe kyakuŋŋaana n'abaavanga mu buli kibuga bwe bajja w'ali, n'agera olugero nti 5Omusizi yafuluma okusiga ensigo ze; bwe yali ng'asiga, endala ne zigwa ku mabbali g'ekkubo; ne zirinnyirirwa, ennyonyi ez'omu bbanga ne zizirya. 6Endala ne zigwa ku lwazi; bwe zaamala okumera ne ziwotookerera, olw'obutaba na mazzi. 7Endala ne zigwa wakati mu maggwa; amaggwa ne gamerera wamu nazo ne gazizisa. 8Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera, ne zibalako emmere buli mpeke kikumi. Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n'ayogerera waggulu nti Alina amatu ag'okuwulira awulire.
9Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti Olugero olwo kiki? 10#Is 6:9,10N'agamba nti Mmwe muweereddwa okumanya ebyama eby'obwakabaka bwa Katonda: naye abalala mu ngero; era bwe balaba baleme okulaba, era bwe bawulira baleme okutegeera. 11#1 Peet 1:23Era olugero lwe luno: Ensigo kye kigambo kya Katonda. 12#1 Kol 1:21Bali ab'oku mabbali g'ekkubo be bawulira; awo Setaani n'ajja n'akwakkula ekigambo mu mitima gyabwe baleme okukkiriza n'okulokolebwa. 13N'ab'oku lwazi be bawulira ekigambo ne bakikkiriza n'essanyu; kyokka tebalina mmizi, bakikkirizaako kaseera, era mu biro eby'okukemebwa baterebuka. 14N'ezo ezaagwa mu maggwa, abo be bawulira, awo bwe bagenda ne baziyizibwa n'okweraliikirira n'obugagga n'essanyu ery'omu bulamu buno ne batatuukiriza kukuza mmere. 15#Bik 16:14, Beb 10:36, Kub 3:10N'ezo ez'omu ttaka eddungi, abo be bawulira ekigambo mu mutima omugolokofu, omulungi, ne bakinyweza, ne babala emmere n'okugumiikiriza.
16 #
Mat 5:15
#
Mak 4:21-25
Era tewali akoleeza ttabaaza n'agisaanikira mu kibbo, oba kugissa wansi w'ekiriri; naye agissa ku kikondo abayingiramu balabe bw'eyaka. 17#Mat 10:26Kubanga tewali kigambo ekyakisibwa ekitalirabisibwa; newakubadde ekyakwekebwa ekitalimanyibwa ne kirabika mu lwatu. 18#Luk 19:26Kale mwekuumenga bwe muwulira; kubanga buli alina aliweebwa; era buli atalina n'ekyo ky'alowooza nti ali nakyo kirimuggibwako.
19 #
Mat 12:46-50, Mak 3:31-35 Awo nnyina ne baganda be ne bajja gy'ali, ne batayinza kumutuukako olw'ekibiina. 20N'abuulirwa nti Nnyoko ne baganda bo bayimiridde ebweru baagala okukulaba. 21Naye n'addamu n'abagamba nti Mmange ne baganda bange be bano abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikola. 22#Mat 8:18; 23:27, Mak 4:35-41Awo olwatuuka ku lunaku lumu ku ezo n'asaabala mu lyato ye n'abayigirizwa be; n'abagamba nti Tuwunguke tugende emitala w'ennyanja; ne bagenda. 23Awo bwe baali nga baseeyeeya ne yeebaka otulo. Omuyaga mungi ne gukunta ku nnyanja; amazzi ne gaba nga gaagala okujjula, ne baba mu kabi. 24Ne bajja w'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti Mukama waffe, Mukama waffe, tufa. N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga n'okwefuukuula kw'amazzi; ne bikkakkana, n'eba nteefu. 25N'abagamba nti Okukkiriza kwammwe kuli luuyi wa? Ne batya ne beewuunya, ne boogeragana bokka na bokka nti Kale ani ono, kubanga n'empewo n'amazzi abiragira ne bimuwulira?
26 #
Mat 8:28-34, Mak 5:1-20 Awo ne bagoba ku nsi y'Abagerasene eyolekera e Ggaliraaya. 27Awo bwe yavaamu n'atuuka ku ttale, n'asanga omuntu ng'ava mu kibuga eyaliko dayimooni, nga yaakamala ennaku nnyingi nga tayambala lugoye ne mu nnyumba nga tatuulamu, naye ng'abeera mu ntaana. 28Bwe yalaba Yesu n'ayogerera waggulu n'avuunama mu maaso ge, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda ali waggulu ennyo? Nkwegayiridde, tombonereza. 29Kubanga yalagira dayimooni okuva ku muntu oyo. Kubanga yali yaakamala ebiro bingi nga amukutte: yasibibwanga mu njegere ne mu masamba ng'akuumibwa; n'akutulanga ebyamusiba, dayimooni n'amugoberanga mu ddungu. 30Yesu n'amubuuza nti Erinnya lyo ggwe ani? N'agamba nti Liigyoni; kubanga dayimooni bangi abaamuyingiramu. 31Ne bamwegayirira aleme okubalagira okuvaako okugenda mu bunnya. 32Awo waaliwo eggana ly'embizzi nnyingi nga zirya ku lusozi, ne bamwegayirira abalagire baziyingiremu. N'abalagira. 33Awo badayimooni ne bava ku muntu ne bayingira mu mbizzi; eggana ne lifubutukira mu bbanga ne zigwa mu nnyanja ne zifa amazzi. 34Awo abasumba bwe baalaba ebibaddewo ne badduka ne babyogera mu kibuga ne mu byalo. 35Abantu ne bavaayo okulaba ebibaddewo; ne bajja eri Yesu ne balaba omuntu oyo eyavuddeko badayimooni ng'atudde awali ebigere bya Yesu, ng'ayambadde olugoye, ng'okutegeera kwe kumuzzeemu: ne batya. 36N'abo abaalaba ne babuulira bwe yakoleddwa oyo eyali akwatiddwa badayimooni. 37N'abantu bonna ab'ensi y'Abagerasene eriraanyeewo ne bamwegayirira ave gye bali, kubanga obuti bungi bwali bubakutte: awo n'asaabala mu lyato n'addayo. 38Naye omuntu eyavaako badayimooni n'amwegayirira abeere naye; naye n'amusiibula ng'agamba nti 39Ddayo mu nnyumba yo, onnyonnyole ebigambo Katonda by'akukoledde bwe biri ebikulu. N'agenda ng'abuulira ekibuga kyonna bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera.
40 #
Mat 9:18-26, Mak 5:21-43 Awo Yesu bwe yakomawo, ekibiina ne kimwaniriza n'essanyu; kubanga bonna baali nga bamulindiridde. 41Kale, laba, omuntu erinnya lye Yayiro omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'ajja n'agwa awali ebigere bya Yesu n'amwegayirira okuyingira mu nnyumba ye: 42#Luk 7:12kubanga yalina muwala we eyazaalibwa omu nga yaakamala emyaka kkumi n'ebiri, era oyo yali ng'agenda kufa. Naye bwe yali ng'agenda ebibiina ne bimunyigiriza.
43N'omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri, eyawanga abasawo ebintu bye byonna n'atayinza kuwonyezebwa muntu yenna, 44oyo n'amufuluma emabega n'akoma ku lukugiro lw'olugoye lwe: amangu ago ekikulukuto kye ne kikalira. 45Yesu n'agamba nti Ani ankomyeko? Awo bwe beegaana bonna, Peetero ne banne ne bagamba nti Mukama waffe, ebibiina bikwetoolodde bikunyigiriza. 46Naye Yesu n'agamba nti Omuntu ankomyeko: kubanga mpulidde ng'amaanyi ganvuddemu. 47Awo omukazi oyo bwe yalaba nga takwekeddwa, n'ajja ng'akankana n'amufukaamirira n'amubuulira mu maaso g'abantu bonna ensonga bw'eri emukomezzaako, ne bw'awonye amangu ago. 48#Luk 7:50N'amugamba nti Mwana wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.
49Awo yali akyayogera, ne wajja omuntu eyava mu nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro ng'agamba nti Muwala wo afudde; toteganya Muyigiriza. 50Naye Yesu bwe yawulira n'amuddamu nti Totya: kkiriza bukkiriza, anaaba mulamu. 51Awo bwe yatuuka ku nnyumba n'ataganya muntu mulala kuyingira naye wabula Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne kitaawe w'omuwala ne nnyina. 52#Luk 7:13Awo baali nga bakaaba bonna, nga bamulirira; ye n'agamba nti Temukaaba, kubanga tafudde, naye yeebase tulo. 53Ne bamusekerera nnyo, kubanga baamanya ng'afudde. 54Ye n'amukwata ku mukono n'ayogerera waggulu ng'agamba nti Omuwala, golokoka. 55Omwoyo gwe ne gukomawo n'ayimirira amangu ago. N'alagira okumuwa eky'okulya. 56#Luk 5:14, Mak 7:36Abazadde be ne bawuniikira; naye ye n'abakuutira baleme kubuulirako muntu ebibaddewo.
Currently Selected:
Lukka 8: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.