1
Lukka 6:38
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Mugabenga, nammwe muligabirwa; ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, eky'omuyiika, kye balibaweera mu kifuba. Kubanga ekigera ekyo kye mugera, nammwe kye muligererwa.
Compare
Explore Lukka 6:38
2
Lukka 6:45
Omuntu omulungi ekirungi akiggya mu tterekero eddungi ery'omutima gwe; n'omubi ekibi akiggya mu tterekero ebbi: kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima akamwa ke bye koogera.
Explore Lukka 6:45
3
Lukka 6:35
Naye mwagalenga abalabe bammwe mubakolenga bulungi, mwazikenga so temulekangayo kusuubira; n'empeera yammwe eriba nnyingi, nammwe muliba baana b'Oyo Ali waggulu ennyo: kubanga ye mulungi eri abateebaza n'ababi.
Explore Lukka 6:35
4
Lukka 6:36
Mube n'ekisa, nga Kitammwe bw'alina ekisa.
Explore Lukka 6:36
5
Lukka 6:37
Era temusalanga musango, nammwe temulisalirwa: era temusinzanga musango, nammwe temulisinzibwa musango: musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa
Explore Lukka 6:37
6
Lukka 6:27-28
Naye mbagamba mmwe abawulira nti Mwagalenga abalabe bammwe, mukolenga bulungi ababakyawa, musabirenga omukisa ababakolimira, musabirenga ababagirira ekyejo.
Explore Lukka 6:27-28
7
Lukka 6:31
Era nga bwe mwagala abantu okubakolanga, nammwe mubakolenga bwe mutyo.
Explore Lukka 6:31
8
Lukka 6:29-30
Oyo akukubanga oluba omukyusizanga n'olw'okubiri; n'akuggyangako omunagiro gwo, n'ekkanzu togimugaananga. Buli akusabanga omuwanga; n'oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga nate.
Explore Lukka 6:29-30
9
Lukka 6:43
Kubanga tewali muti mulungi ogubala ebibala ebibi, newakubadde omuti omubi ogubala ebibala ebirungi.
Explore Lukka 6:43
10
Lukka 6:44
Kubanga buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga tebanoga ttiini ku busaana, so tebanoga zabbibu ku mweramannyo.
Explore Lukka 6:44
Home
Bible
Plans
Videos