Awo olwatuuka bwe yali mu kibuga kimu mu ebyo, laba, waaliwo omuntu eyali ajjudde ebigenge; oyo bwe yalaba Yesu, n'avuunama amaaso ge n'amwegayirira, ng'agamba nti Mukama wange, bw'oyagala, oyinza okunnongoosa. N'agolola omukono gwe n'amukomako ng'agamba nti Njagala, longooka. Amangu ago ebigenge bye ne bimuwonako.