YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 5

5
1 # Mat 4:18-22, Mak 1:16-20 Awo olwatuuka ebibiina bwe byamunyigiriza ne bawulira ekigambo kya Katonda, ye yali ng'ayimiridde ku nnyanja y'e Genesaleeti; 2n'alaba amaato abiri nga gali ku nnyanja: naye abavubi baali bagavuddemu nga bayoza emigonjo gyabwe. 3N'asaabalako eryato erimu, eryali erya Simooni; n'amugamba okulisembezaayo katono okuva ku ttale. N'atuula n'ayigiririza ebibiina mu lyato. 4#Yok 21:6Bwe yali ng'amaze okwogera, n'agamba Simooni nti Sembera ebuziba, musuule emigonjo gyammwe, muvube. 5Simooni n'addamu n'agamba nti Omwami, twateganye okukeesa obudde ne tutakwasa kintu: naye olw'ekigambo kyo nnaasuula emigonjo. 6Awo bwe baakola bwe batyo, ne bakwasa ebyennyanja bingi nnyo nnyini; emigonjo gyabwe ne gyagala okukutuka; 7ne bawenya bannaabwe mu lyato eddala, bajje babayambe. Ne bajja ne bajjuza amaato gombi, n'okukka ne gaagala okukka. 8Naye Simooni Peetero, bwe yalaba, n'avuunama ku bigere bya Yesu, n'agamba nti Ndeka; kubanga ndi muntu alina ebibi, Mukama wange. 9Kubanga yawuniikirira ne bonna abaali naye olw'ebyennyanja ebingi bye baakwasa; 10#Mat 13:47ne Yakobo ne Yokaana nabo bwe batyo, abaana ba Zebbedaayo, abaali bassizza ekimu ne Simooni. Yesu n'agamba Simooni nti Totya: okusooka kaakano onoovubanga abantu. 11#Mat 19:27Awo bwe baagobya amaato gaabwe ettale, ne baleka byonna, ne bagenda naye.
12 # Mat 8:1-4, Mak 1:40-45 Awo olwatuuka bwe yali mu kibuga kimu mu ebyo, laba, waaliwo omuntu eyali ajjudde ebigenge; oyo bwe yalaba Yesu, n'avuunama amaaso ge n'amwegayirira, ng'agamba nti Mukama wange, bw'oyagala, oyinza okunnongoosa. 13N'agolola omukono gwe n'amukomako ng'agamba nti Njagala, longooka. Amangu ago ebigenge bye ne bimuwonako. 14#Leev 13:49; 14:2-32Ye n'amukuutira obutabuulirako muntu; naye genda, weerage eri kabona, oweeyo eby'okulongooka kwo, nga Musa bwe yalagira, okuba omujulirwa gye bali. 15Naye ebigambo bye ne byeyongera bweyongezi okubuna, ebibiina bingi ne bikuŋŋaana okuwulira n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe. 16#Mak 1:35Naye ye ne yeeyawula n'agenda mu malungu n'asaba.
17 # Mat 9:1-8, Mak 2:1-12 Awo olwatuuka ku lunaku lumu mu ezo, yali ng'ayigiriza; n'Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka baali batudde awo, abaali bavudde mu buli kibuga eky'e Ggaliraaya, n'e Buyudaaya n'e Yerusaalemi: n'amaanyi ga Mukama gaali naye okuwonya. 18Laba, abantu ne baleetera omuntu ku kitanda eyali akoozimbye: ne basala amagezi okumuyingiza, n'okumuteeka mu maaso ge. 19Bwe bataalaba wa kumuyingiriza olw'ekibiina, ne balinnya waggulu ku nju, ne bamuyisa mu matoffaali ne bamussiza ku kitanda kye wakati mu maaso ga Yesu. 20Awo bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba nti Omuntu, ebibi byo bikuggiddwako. 21#Luk 7:49, Is 43:25, Yok 5:12Abawandiisi n'Abafalisaayo ne batanula okuwakana, nga bagamba nti Ani ono ayogera eby'okuvvoola? Ani ayinza okuggyako ebibi, wabula Katonda yekka? 22Naye Yesu bwe yategeera okuwakana kwabwe n'addamu n'abagamba nti Muwakana ki mu mitima gyammwe? 23Ekyangu kiruwa, okugamba nti Ebibi byo bikuggiddwako; oba okugamba nti Golokoka, otambule? 24Naye mutegeere nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi (n'agamba oyo eyali akoozimbye), Nkugamba nti Yimuka, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo. 25Amangu ago n'ayimuka mu maaso gaabwe n'asitula ekyo kye yali agalamiddeko, n'agenda ewuwe, ng'agulumiza Katonda. 26Okuwuniikirira ne kubakwata bonna, ne bagulumiza Katonda; ne batya nnyo, nga bagamba nti Tulabye eby'ekitalo leero.
27Awo oluvannyuma lw'ebyo n'avaayo n'alaba omuwooza erinnya lye Leevi, ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti Yita nange. 28N'aleka byonna, n'agolokoka, n'ayita naye. 29#Luk 15:1Leevi n'amufumbira embaga nnene mu nnyumba ye: era waaliwo ekibiina kinene eky'abawooza n'eky'abalala abaali batudde nabo ku mmere. 30Abafalisaayo n'abawandiisi baabwe ne beemulugunyiza abayigirizwa be, nga bagamba nti Kiki ekibaliisa n'okunywera awamu n'abawooza n'abantu abalina ebibi? 31Yesu n'addamu n'abagamba nti Abalamu tebeetaaga musawo; wabula abalwadde. 32Nze sajja kuyita batuukirivu wabula abantu abalina ebibi okwenenya. 33#Mat 9:14-17, Mak 2:18-22Nabo ne bamugamba nti Abayigirizwa ba Yokaana basiiba emirundi mingi, era basaba; era n'ab'Abafalisaayo bwe batyo; naye ababo balya, banywa. 34Yesu n'abagamba nti Kale muyinza okusiibya abaana b'obugole, awasizza omugole bw'aba ng'ali nabo? 35Naye ennaku zirijja; awo awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba mu nnaku ezo. 36Era n'abagerera olugero nti Tewali muntu ayuza ku lugoye oluggya ekiwero n'akitunga mu lugoye olukadde; kuba bw'akola atyo, ekiggya kiyuza olukadde era n'ekiwero ky'ayuza ku luggya tekifaanana na lukadde. 37So tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde; kubanga omwenge omusu gwabya ensawo ez'amaliba, ne guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana. 38Naye kigwana omwenge omusu okugufuka mu nsawo ez'amaliba empya. 39So tewali muntu anywedde ku mwenge omukulu ayagala omuto; kubanga agamba nti Omukulu gwe mulungi.

Currently Selected:

Lukka 5: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in