Bezaleeli n'akola essanduuko ey'omuti ogwa akasiya, sentimita kikumi mu kkumi obuwanvu, sentimita nkaaga mu mukaaga obugazi, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugulumivu. Munda ne kungulu n'agibikkako zaabu omulungi, n'agikolako omuge ogwa zaabu okugyetoolooza.