1
EKY'ABALEEVI 10:1
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Awo Nadabu ne Abihu, batabani ba Arooni, ne baddira ebyoterezo buli omu ekikye, ne babiteekamu omuliro, ne bateekako obubaane, ne baguleeta mu maaso ga Mukama. Naye omuliro ogwo tegwali mutukuvu, kubanga Mukama si ye yalagira okuguleeta.
Compare
Explore EKY'ABALEEVI 10:1
2
EKY'ABALEEVI 10:3
Awo Musa n'agamba Arooni nti: “Kino Mukama kye yayogerako, bwe yagamba nti: ‘Bonna abampeereza bateekwa okussaamu obutukuvu bwange ekitiibwa. Era nnaagulumizibwanga mu maaso g'abantu bonna.’ ” Arooni n'asirika.
Explore EKY'ABALEEVI 10:3
3
EKY'ABALEEVI 10:2
Amangwago Mukama n'asindika omuliro, ne gubookya, ne bafiira mu maaso ge.
Explore EKY'ABALEEVI 10:2