YouVersion Logo
Search Icon

EKY'ABALEEVI 10

10
Ekibi kya Nadabu ne Abihu
1Awo Nadabu ne Abihu, batabani ba Arooni, ne baddira ebyoterezo buli omu ekikye, ne babiteekamu omuliro, ne bateekako obubaane, ne baguleeta mu maaso ga Mukama. Naye omuliro ogwo tegwali mutukuvu, kubanga Mukama si ye yalagira okuguleeta. 2Amangwago Mukama n'asindika omuliro, ne gubookya, ne bafiira mu maaso ge. 3Awo Musa n'agamba Arooni nti: “Kino Mukama kye yayogerako, bwe yagamba nti: ‘Bonna abampeereza bateekwa okussaamu obutukuvu bwange ekitiibwa. Era nnaagulumizibwanga mu maaso g'abantu bonna.’ ” Arooni n'asirika.
4Musa n'ayita Misayeli ne Elizafani, batabani ba Wuzziyeeli, kojja wa Arooni, n'abagamba nti: “Mujje musitule emirambo gya baganda bammwe, mugiggye mu Weema Entukuvu, mugitwale wabweru w'olusiisira.” 5Ne bajja, ne bagisitulira ku ngoye, ne bagitwala wabweru w'olusiisira, nga Musa bwe yalagira.
6Musa n'agamba Arooni ne batabani be Eleyazaari ne Yitamaari nti: “Temutankuula enviiri zammwe, wadde okuyuza ebyambalo byammwe, okulaga nti munakuwadde. Bwe munaakola ekyo, mujja kufa, era Mukama ajja kusunguwalira ekibiina kyonna. Naye Bayisirayeli bannammwe bonna, bakkirizibwa okukungubagira okufiirwa okwo, okuleeteddwa omuliro Mukama gw'asindise. 7Temuva ku mulyango gwa Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, lwe mutaafe, kubanga muliko omuzigo ogwabasiigiddwa okwawulirwa Mukama.” Ne bakola nga Musa bwe yagamba.
Amateeka agafuga bakabona
8Mukama n'agamba Arooni nti: 9“Ggwe ne batabani bo, bwe munaabanga munywedde ku mwenge, oba ku kitamiiza kyonna, temuuyingirenga mu Weema ey'okunsisinkanirangamu. Bwe mulikikola, mugenda kufa. Etteeka lino linaakuumibwanga ab'ezzadde lyammwe ennaku zonna. 10Mwawulenga ebyo ebitukuvu, ku bikozesebwa ebya bulijjo, ebyo ebirongoofu, n'ebitali birongoofu. 11Era muyigirizenga Abayisirayeli amateeka ge mbawadde nga mpita mu Musa.”
12Arooni ne batabani be Eleyazaari ne Yitamaari abaasigalawo, Musa n'abagamba nti: “Mutwale ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekisigaddewo ku biweebwayo eri Mukama ebyokebwa, mukikolemu emigaati egitazimbulukusiddwa, mugiriire ku mabbali g'alutaari, kubanga ekiweebwayo ekyo kitukuvu nnyo.#Laba ne Leev 6:14-18 13Mugiriire mu Kifo Ekitukuvu. Gwe mugabo gwo ggwe Arooni, n'ogwa batabani bo, ku byokulya ebiweebwayo eri Mukama. Ekyo Mukama kye yandagira. 14Naye ekifuba ekiweebwayo nga kiwuubibwa, n'ekisambi ekiweebwayo nga kisitulibwa, ggwe ne batabani bo ne bawala bo munaayinzanga okubiriira mu kifo kyonna ekirongoofu, kubanga ebyo bikuweebwa ggwe n'abaana bo, nga gwe mugabo gwammwe bakabona, ku bitambiro ebiweebwayo Abayisirayeli olw'okutabagana.#Laba ne Leev 7:30-34 15Banaaleetanga ekisambi ekisitulibwa n'ekifuba ekiwuubibwa nga baleeta amasavu okuba ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa. Ebitundu ebyo banaabiwuubanga, bibe ebiweebwayo ebiwuubibwa mu maaso ga Mukama. Era binaabanga bibyo era bya baana bo ennaku zonna, nga Mukama bwe yalagira.”
16Musa n'abuuza ebifa ku mbuzi ey'ekitone ekiweebwayo olw'ekibi. N'azuula nga yayokeddwa dda. N'asunguwalira Eleyazaari ne Yitamaari, batabani ba Arooni abaasigalawo. N'ababuuza nti: 17“Ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, lwaki temukiriiridde mu Kifo Ekitukuvu? Ekitone ekyo kitukuvu nnyo, era Mukama yakibawa okuggyawo ebibi by'ekibiina, n'okuddaabiriza ku lw'ekibiina mu maaso ga Mukama.#Laba ne Leev 6:24-26 18Omusaayi gwakyo nga bwe gutaaleeteddwa mu Weema Entukuvu, mwandikiriiridde omwo, nga bwe nalagira.”
19Awo Arooni n'addamu nti: “Olwaleero abantu baleese ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, era bawaddeyo ekiweebwayo ekyokebwa, naye era ne ntuukibwako ebizibu bino byonna. Kale era singa ndidde ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, Mukama yandisiimye?” 20Musa bwe yawulira ebyo, n'amatira.

Currently Selected:

EKY'ABALEEVI 10: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in