Amangwago ne wabaawo okuwuuma okwava mu ggulu, nga kuli ng'okuwuuma kw'empewo ey'amaanyi ennyo, ne kujjula ennyumba yonna mwe baali batudde. Awo ne balaba ennimi eziri ng'ez'omuliro, nga zeeyawuddemu, buli lulimi ne lubeera ku buli omu ku bo. Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, era ne batandika okwogera mu nnimi eza buli ngeri, nga Mwoyo Mutuukirivu bwe yaziboogeza.