YouVersion Logo
Search Icon

EBIKOLWA 2

2
Okujja kwa Mwoyo Mutuukirivu
1Awo olunaku olwa Pentekoote ne lutuuka. Ku olwo, abakkiriza bonna baali bakuŋŋaanidde mu kifo kimu.#Laba ne Leev 23:15-21; Ma 16:9-11 2Amangwago ne wabaawo okuwuuma okwava mu ggulu, nga kuli ng'okuwuuma kw'empewo ey'amaanyi ennyo, ne kujjula ennyumba yonna mwe baali batudde. 3Awo ne balaba ennimi eziri ng'ez'omuliro, nga zeeyawuddemu, buli lulimi ne lubeera ku buli omu ku bo. 4Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, era ne batandika okwogera mu nnimi eza buli ngeri, nga Mwoyo Mutuukirivu bwe yaziboogeza. 5Mu Yerusaalemu mwalimu Abayudaaya, abasajja abajjumbira eddiini, abaali bavudde mu buli kitundu kya nsi. 6Bwe baawulira okuwuuma okwo, ne bakuŋŋaana bangi, ne basamaalirira, kubanga buli omu yawulira abakkiriza Kristo nga boogera mu lulimi lwe. 7Ne bawuniikirira, ne beewuunya nga bagamba nti: “Abantu bano bonna aboogera si Bayudaaya? 8Kale lwaki ffe ffenna tubawulira nga boogera mu nnimi z'ewaffe gye twazaalirwa? 9Tuva mu Paruti, Mediya ne Elamu; mu Mesopotaamiya, Buyudaaya, ne mu Kapadookiya; mu Ponto ne mu Asiya; 10mu Furigiya ne mu Panfiliya; mu Misiri ne mu bitundu ebya Libiya okumpi ne Kireene. Abamu tuva Rooma, 11nga tuli Bayudaaya, awamu n'ab'amawanga amalala abasoma Ekiyudaaya. Era abalala bava mu Kureete ne mu Buwarabu. Kyokka ffenna tubawulira nga boogera mu nnimi zaffe, eby'amaanyi Katonda by'akoze!”
12Bonna nga basamaaliridde era nga basobeddwa, ne beebuuzaganya nga bagamba nti: “Kiki kino?” 13Naye abamu ne beesekera, ne bagamba nti: “Batamidde mwenge musu!” 14Awo Peetero ng'ali n'abatume abalala ekkumi n'omu, n'ayimirira, n'akangula ku ddoboozi, n'agamba nti: “Bayudaaya bannange, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemu, muwulirize, mutegeere bye ŋŋenda okwogera. 15Abantu bano tebatamidde, nga mmwe bwe mulowooza, kubanga kati essaawa zikyali ssatu ez'oku makya. 16Wabula kino ky'ekyo omulanzi Yoweeli kye yayogera nti:
17‘Katonda agamba nti:
Mu nnaku ez'oluvannyuma,
ndigabira abantu bonna
Mwoyo wange.
Batabani bammwe
ne bawala bammwe
baliranga ebirijja.
Abavubuka bammwe balirabikirwa,
n'abakadde mu mmwe
baliroota ebirooto.#Laba ne Yol 2:28-32
18Kya mazima, mu nnaku ezo,
abaddu bange n'abazaana bange
ndibagabira Mwoyo wange,
ne balanga ebirijja.
19Ndikola ebyamagero ku ggulu,
n'ebyewuunyisa ku nsi.
Walibaawo omusaayi n'omuliro,
n'omukka ogukutte.
20Enjuba eribikkibwa ekizikiza,
n'omwezi gulimyuka ng'omusaayi.
Ebyo bye birikulembera olunaku lwa Mukama
olukulu era olwekitiibwa.
21Era buli alikoowoola Mukama,
alirokolebwa.’
22“Abayisirayeli, muwulire ebigambo bino. Yesu Omunazaareeti ye musajja Katonda gwe yakakasa nti ye yamutuma. Kino kyalabikira mu by'amaanyi n'ebyamagero n'ebyewuunyo, Katonda bye yamukozesa mu mmwe, nga nammwe bwe mumanyi. 23Yesu oyo yaweebwayo, nga Katonda bwe yali amaze okuteesa n'okumanya, ne mumukwasa abantu ababi okumukomerera ku musaalaba, ne mumutta.#Laba ne Mat 27:35; Mak 15:24; Luk 23:33; Yow 19:18 24Kyokka Katonda yamuzuukiza, n'amuggya mu bulumi bw'okufa, kubanga okufa kwali nga tekuyinza kumunywereza ddala.#Laba ne Mat 28:5-6; Mak 16:6; Luk 24:5
25Dawudi yamwogerako nti:
‘Nalaba Mukama ng'ali nange bulijjo;
ng'ali kumpi nange
nneme okusagaasagana.#Laba ne Zab 16:8-11
26Omutima gwange
kyeguva gusanyuka,
n'ebigambo byange
ne bijjula essanyu.
Era nze wadde ndi wa kufa,
nja kusigala nga nnina essuubi:
27kubanga tolireka mwoyo
gwange magombe,
era toliganya
mutukuvu wo kuvunda.
28Wandaga amakubo
agatuuka mu bulamu.
Olinzijuza essanyu
kubanga oli nange.’
29“Abooluganda, nnyinza okubategeeza ebifa ku jjajjaffe omukulu Dawudi nga sirina kutya. Dawudi oyo yafa n'aziikibwa, n'amasiro ge gali wano ewaffe n'okutuusa kati. 30Dawudi yali mulanzi, era yamanya Katonda kye yamusuubiza ng'alayira n'okulayira nti omu ku bazzukulu be, alisikira entebe ey'obwakabaka bwe.#Laba ne Zab 132:11; 2 Sam 7:12-13 31Era yamanya ebiribaawo, n'ayogera ku kuzuukira kwa Kristo, ng'agamba nti:
‘Teyalekebwa magombe,
era n'omubiri gwe tegwavunda.’
32“Yesu oyo, Katonda yamuzuukiza, era ffe tukakasa okuzuukira kwe. 33Bwe yamala okulinnyisibwa n'aliraana Katonda ku ludda lwe olwa ddyo, era n'afuna Mwoyo Mutuukirivu eyamusuubizibwa Katonda Kitaawe, n'alyoka agaba ekirabo kye kino, kye mulabye era kye muwulira. 34Dawudi teyalinnya mu ggulu, sso ye yennyini yagamba nti: ‘Katonda yagamba Mukama wange nti:
Tuula ng'onninaanye
ku ludda lwange olwa ddyo,#Laba ne Zab 110:1
35okutuusa lwe ndifuula abalabe bo
ekirinnyibwako ebigere byo.’
36“Kale nno, abantu ba Yisirayeli bonna bamanye awatali kubuusabuusa, nti Yesu oyo gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo.”
37Awo bwe baawulira ebyo, ne beeraliikirira nnyo, ne bagamba Peetero n'abatume abalala nti: “Abooluganda, tukole ki?” 38Peetero n'abagamba nti: “Mwenenye, era buli omu mu mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo, mulyoke musonyiyibwe ebibi byammwe, era munaafuna ekirabo, ye Mwoyo Mutuukirivu, 39kubanga kino Katonda yakibasuubiza mmwe, n'abaana bammwe, era n'abo bonna abali ewala, bonna Mukama Katonda waffe b'aliyita.” 40Era Peetero n'ayongera okubategeeza mu bigambo ebirala bingi, n'abagamba nti: “Mulokolebwe, mwewonye ekibonerezo ekigenda okuweebwa ab'omulembe guno omubi.” 41Awo abakkiriza ebigambo bye, ne babatizibwa. Ku lunaku olwo, omuwendo gw'abakkiriza ne gweyongerako abantu ng'enkumi ssatu. 42Ne banyiikiriranga okuyigirizibwa abatume, n'okwetaba mu nkuŋŋaana ez'okutabagana, n'okuliira awamu ng'abooluganda,#2:42 n'okuliira awamu ng'abooluganda: Mu Luyonaani “Okumenyaamenyamu omugaati.” era n'okusinza Katonda.
Obulamu bw'abakkiriza
43Ebyamagero bingi n'ebyewuunyo ne bikolebwanga abatume, abantu bonna ne beewuunya. 44Bonna abakkiriza baabanga wamu, era nga bassa kimu mu byonna.#Laba ne Bik 4:32-35 45Baatundanga ebyabwe, ensimbi ze baggyangamu ne bazigabiranga bonna, nga buli muntu bwe yeetaaganga. 46Baanyiikiranga okukuŋŋaanira mu Ssinzizo buli lunaku. Era mu maka gaabwe baaliirangamu emmere yaabwe nga bajjudde essanyu n'okukkaanya, 47nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Buli lunaku Mukama yabongerangako abo abaalokolebwanga.

Currently Selected:

EBIKOLWA 2: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for EBIKOLWA 2