EBIKOLWA 3
3
Omusajja omulema awonyezebwa
1Awo Peetero ne Yowanne ne bambuka mu Ssinzizo ku ssaawa ey'omwenda ey'olweggulo, mu ssaawa ey'okusinzizaamu Katonda. 2Ku luggi olw'Essinzizo oluyitibwa Olulungi, waaliwo omusajja eyali omulema okuviira ddala lwe yazaalibwa. Buli lunaku baamuteekanga awo ku luggi asabirize ensimbi ku bantu abaayingiranga mu Ssinzizo.
3Bwe yalaba Peetero ne Yowanne nga bagenda okuyingira mu Ssinzizo, n'abasaba ensimbi. 4Ne bamusimba amaaso. Peetero n'amugamba nti: “Tutunuulire.” 5Awo n'abatunuulira, ng'asuubira nti banaabaako kye bamuwa. 6Peetero n'amugamba nti: “Ensimbi sirina n'akatono, naye kye nnina kye nnaakuwa. Mu linnya lya Yesu Omunazaareeti nkulagira, tambula.” 7Awo n'amukwata ku mukono gwe ogwa ddyo, n'amuyimusa. Amangwago ebigere bye n'obukongovvule ne bifuna amaanyi. 8N'agolokoka mangu, n'ayimirira, n'atambula, n'ayingira nabo mu Ssinzizo, ng'atambula, ng'abuuka, era ng'atendereza Katonda. 9Abantu bonna ne bamulaba ng'atambula era ng'atendereza Katonda. 10Ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku Luggi Olulungi olw'Essinzizo ng'asabiriza. Bonna ne bawuniikirira nnyo, era ne beewuunya olw'ekyo ekikoleddwa.
Peetero bye yayogerera mu Ssinzizo
11Bwe yali akyekutte ku Peetero ne Yowanne, abantu bonna ne basamaalirira, ne badduka ne bagenda awali Peetero ne Yowanne ku kifugi ekiyitibwa ekya Solomooni. 12Peetero bwe yabalaba, n'abagamba nti: “Abasajja Abayisirayeli, lwaki kino kibeewuunyisa? Lwaki mututunuulira bwe mutyo? Mulowooza nti buyinza bwaffe, oba bulungi bwaffe mu maaso ga Katonda bye bisobozesezza ono okutambula? 13Katonda wa Aburahamu, era owa Yisaaka, era owa Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, ye agulumizizza omuweereza we Yesu, mmwe gwe mwawaayo era ne mumwegaanira mu maaso ga Pilaato, eyali asazeewo okumuta.#Laba ne Kuv 3:15 14Naye mmwe mwegaana omutuukirivu era atuukiriza byonna Katonda by'alagira, ne musaba okubateera omutemu.#Laba ne Mat 27:15-23; Mak 15:6-14; Luk 23:13-23; Yow 19:12-15 15Mwatta oyo awa bonna obulamu, kyokka Katonda n'amuzuukiza. Era ffe kino tukikakasa. 16Obuyinza bwa Yesu oyo bwe buwadde amaanyi omuntu ono gwe mulaba era gwe mumanyi, era okwesiga Yesu kwe kuleetedde omuntu ono okuwonera ddala nga mwenna bwe mulaba.
17“Kale nno abooluganda, mmanyi nga mmwe, awamu n'abafuzi bammwe, bye mwakola Yesu, mwabikola mu butamanya. 18Mu byo Katonda n'atuukiriza ebyo bye yayogeza abalanzi be bonna ab'edda, abaalanga ku Kristo we nti alibonyaabonyezebwa. 19Kale nno mwenenye, mudde eri Katonda, ebibi byammwe bisonyiyibwe, 20Katonda alyoke awenga emitima gyammwe okuwummula, era abatumire Kristo gwe yabategekera edda, ye Yesu. 21Kristo oyo ateekwa okubeera mu ggulu okutuusa ebintu byonna lwe birizzibwa obuggya, nga Katonda bwe yayogerera mu balanzi be abatukuvu abaaliwo edda. 22Musa yagamba nti: ‘Mukama Katonda alibatumira omulanzi aliva mu baganda bammwe, nga bwe yabatumira nze. Mumuwuliranga mu byonna by'alibagamba.#Laba ne Ma 18:15,18 23Kyokka buli muntu ataliwulira mulanzi oyo, aliggyibwa mu bantu ba Katonda, n'azikirizibwa.’#Laba ne Ma 18:19 24Era abalanzi bonna abaayogera, okuva ku Samweli n'abaamuddirira, ennaku zino baaziranga. 25Ebyo Katonda bye yasuubiza ng'ayita mu balanzi, byammwe. Era n'endagaano gye yalagaana ne bajjajjammwe, yakolerwa mmwe. Yagamba Aburahamu nti: ‘Mu bazzukulu bo, amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.’#Laba ne Nta 22:18 26Kale Katonda bwe yalonda omuweereza we, yasooka kumutumira mmwe, abawe omukisa ng'abakyusa mwenna okuva mu bibi byammwe.”
Currently Selected:
EBIKOLWA 3: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.