EBIKOLWA 1
1
1Munnange Tewofilo, mu kitabo kyange ekisooka nawandiika ku ebyo Yesu bye yakola ne bye yayigiriza, okuva lwe yatandika okukola omulimu gwe,#Laba ne Luk 1:1-4 2okutuusiza ddala ku lunaku lwe yatwalirwako mu ggulu. Bwe yali nga tannatwalibwa mu ggulu, yamala kukuutira ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, abatume be, be yalondamu. 3Mu nnaku amakumi ana ng'amaze okubonyaabonyezebwa era n'okuttibwa, yabalabikira emirundi mingi, mu ngeri ezaabakakasiza ddala nti mulamu. Baamulaba, era n'ayogera nabo ku Bwakabaka bwa Katonda. 4Era bwe baakuŋŋaana awamu, n'abalagira nti: “Temuva mu Yerusaalemu, wabula mulinde ekirabo Kitange kye yasuubiza, era kye nabagambako.”#Laba ne Luk 24:49 5Yowanne yabatiza na mazzi, kyokka mmwe mu nnaku ntono, mulibatizibwa na Mwoyo Mutuukirivu.#Laba ne Mat 3:11; Mak 1:8; Luk 3:16; Yow 1:33
Yesu atwalibwa mu ggulu
(Laba ne Mak 16:19-20; Luk 24:50-53)
6Abatume bwe baakuŋŋaana, ne babuuza Yesu nti: “Mukama waffe, mu kiseera kino mw'onoddizaawo obwakabaka bwa Yisirayeli?” 7Yesu n'abagamba nti: “Okumanya ebbanga n'ekiseera si kwammwe. Kitange yakuleka mu buyinza bwe. 8Kyokka Mwoyo Mutuukirivu bw'alijja ku mmwe, muliweebwa amaanyi. Era mulimmanyisa mu Yerusaalemu, ne mu Buyudaaya bwonna, ne mu Samariya, n'okutuusiza ddala ensi yonna gy'ekoma.”#Laba ne Mat 28:19; Mak 16:15; Luk 24:47-48 9Bwe yamala okwogera ebyo, n'atwalibwa mu ggulu nga balaba, ekire ne kimubikka, ne bataddayo kumulaba.#Laba ne Mak 16:19; Luk 24:50-51 10Awo bwe baali nga batunuulira waggulu balabe bw'agenda, abasajja babiri abambadde engoye enjeru, ne bajja ne bayimirira kumpi nabo. 11Abasajja abo ne babuuza abatume nti: “Abasajja ab'e Galilaaya, lwaki muyimiridde nga mutunuulira waggulu? Oyo Yesu abaggyiddwako n'atwalibwa mu ggulu, alikomawo bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu.”
Omusika wa Yuda
(Laba ne Mat 27:3-10)
12Awo abatume ne baddayo e Yerusaalemu nga bava ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti, oluli okumpi ne Yerusaalemu, ebbanga nga lya kilomita emu. 13Bwe baayingira mu kibuga, ne bambuka mu kisenge ekya waggulu kye baabeerangamu. Baali: Peetero ne Yowanne, ne Yakobo ne Andereya, Filipo ne Tomasi, Barutolomaayo ne Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, Simooni Omulwanirizi w'eddembe ly'eggwanga lye, ne Yuda muganda wa Yakobo.#Laba ne Mat 10:2-4; Mak 3:16-19; Luk 6:14-16 14Abo bonna, era n'abakazi omwali Mariya nnyina Yesu ne baganda ba Yesu, ne beemaliranga ku kusinza Katonda. 15Mu nnaku ezo abooluganda ne bakuŋŋaana, nga bawera nga kikumi mu abiri. Peetero n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti: 16“Abooluganda, ekyawandiikibwa, Mwoyo Mutuukirivu kye yayogeza Dawudi ku Yuda eyakulembera abo abaakwata Yesu, kyali kiteekwa okutuukirizibwa. 17Yuda oyo yali omu ku ffe, kubanga yalondebwa okukola omulimu awamu naffe.” 18(Omusajja oyo Yuda, ensimbi ze yaweebwa olw'ekikolwa kye ekibi, yazigulamu ennimiro mwe yagwa n'afa. Yayabikamu wabiri, ebyenda bye ne biyiika.#Laba ne Mat 27:3-8 19Abantu bonna ab'e Yerusaalemu kino bakimanyi, era mu lulimi lwabwe, kyebava bagiyita Akeludama, ekitegeeza nti: “Ennimiro y'Omusaayi”).
20“Mu kitabo kya Zabbuli kyawandiikibwa nti:
‘Ennyumba ye ebeere kifulukwa,
ekibanja kye kibeere matongo.’
Era nti:
‘Obukulu bwe buweebwe omulala.’#Laba ne Zab 69:25; 109:8
21-22“Kale twetaaga omuntu omu okuba awamu naffe mu kukakasa okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu. Omuntu oyo ateekwa okuba omu ku basajja abaayitanga naffe, mu kiseera kyonna Mukama waffe kye yatambulanga naffe, okuva ku lunaku lwe yabatizibwa Yowanne, okutuusiza ddala lwe yatuggyibwako n'atwalibwa mu ggulu.”#Laba ne Mat 3:16; Mak 1:9; 16:19; Luk 3:21; 24:51 23Ne bassaawo abantu babiri: Yosefu ayitibwa Barusabba, era eyatuumibwa erya Yusto, n'omulala Matiya. 24Ne basaba Katonda nga bagamba nti: “Ggwe Mukama omanyi ebiri mu mitima gy'abantu bonna. Tulage gw'olonze ku bano ababiri, 25aweebwe ekifo mu mulimu gw'obutume, Yuda kye yaleka.” 26Ne bakuba akalulu, ne kalonda Matiya, n'abalirwa ku batume ekkumi n'omu.
Currently Selected:
EBIKOLWA 1: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.