YouVersion Logo
Search Icon

EBIKOLWA Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo ekiyitibwa Ebikolwa by'Abatume kyongereza ku Amawulire Amalungi agaawandiikibwa Lukka. Ekigendererwa ky'Ebikolwa kwe kulaga abagoberezi ba Yesu abaasooka nga bwe baabunyisa mu Yerusaalemu, mu Buyudaaya bwonna ne mu Samariya era n'okutuusa ensi yonna gy'ekoma (1:8), Amawulire Amalungi agafa ku Yesu, nga bayambibwa Mwoyo Mutuukirivu. Ekitabo kino kinyumya ng'Obukristo bwe bwatandikira mu Buyudaaya ne bugenda nga bufuuka enzikiriza eyabuna ensi yonna. Omuwandiisi era afaayo nnyo okukakasa abasomi be nti Obukristo tebwajjawo kutiisatiisa kusaanyaawo bufuzi bwa Barooma, wabula bwajja kujjuuliriza nzikiriza oba ddiini ya Kiyudaaya.
Ekitabo ky'Ebikolwa kiyinza okwawulwamu ebitundu bisatu okusinziira ku bugazi bw'ekitundu ky'ensi Amawulire Amalungi agafa ku Yesu kye gaagenda gabuulirwamu, n'ekibiina ky'abamukkiriza ne kiteekebwawo. (1) Entandikwa y'enzikiriza Enkristo mu Yerusaalemu eyaddirira okulinnya kwa Kristo mu ggulu. (2) Okubunyizibwa mu bitundu ebirala mu Palestina, (3) n'okweyongera okubunyizibwa mu bitundu by'ensi ebyetoolodde Ennyanja Eyaawakati okutuukira ddala e Rooma.
Ekikulu ekiragibwa mu Bikolwa gwe mulimu gwa Mwoyo Mutuukirivu eyajja n'amaanyi ku bakkiriza ku lunaku lwa Pentekoote, n'ayongera okuluŋŋamya n'okuwa amaanyi ekibiina ky'abakkiriza n'abakulembeze baakyo mu byabaawo byonna ebinyumizibwa mu kitabo kino.
Obubaka obwaweebwanga abagoberezi ba Kristo abaasooka bufunziddwa mu njigiriza z'Abatume eziwerako, era ebyagwawo ebinyumizibwa mu Bikolwa, biraga amaanyi g'obubaka obwo mu bulamu bw'abakkiriza ne mu ntabagana y'ab'omu kibiina ky'abakkiriza.
Ebiri mu kitabo kino mu bufunze
Okweteekateeka okuwa obujulizi 1:1-26
Ekiragiro n'ekisuubizo kya Yesu ekyasembayo 1:1-14
Omusika wa Yuda 1:15-26
Okuwa obujulizi mu Yerusaalemu 2:1–8:3
Okuwa Obujulizi mu Buyudaaya ne mu Samariya 8:4–12:25
Omulimu gwa Pawulo 13:1–28:31
Olugendo lwa Pawulo olwasooka 13:1–14:28
Olukiiko lw'e Yerusaalemu 15:1-35
Olugendo lwa Pawulo olwokubiri 15:26–18:22
Olugendo lwa Pawulo olwokusatu 18:23–21:16
Pawulo omusibe mu Yerusaalemu, e Kayisaariya, n'e Rooma 21:17–28:31

Currently Selected:

EBIKOLWA Ennyanjula: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in