1
LUKKA 14:26
Luganda Bible 2003
“Singa omuntu ajja gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina, ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, wadde n'obulamu bwe bwennyini, tayinza kuba muyigirizwa wange.
Compare
Explore LUKKA 14:26
2
LUKKA 14:27
Buli ateetikka musaalaba gwe n'angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.
Explore LUKKA 14:27
3
LUKKA 14:11
Buli eyeegulumiza, alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza, aligulumizibwa.”
Explore LUKKA 14:11
4
LUKKA 14:33
Kale bwe kityo buli omu ku mmwe ateefiiriza byonna by'alina, tayinza kuba muyigirizwa wange.
Explore LUKKA 14:33
5
LUKKA 14:28-30
“Kale ani ku mmwe aba ayagala okuzimba omunaala, atasooka kutuula n'abalirira ebyetaagibwa, alabe oba ng'alina ebimala? Sikulwa ng'amala okuteekawo omusingi, n'atasobola kumaliriza, bonna abalaba ne batandika okumusekerera nga bagamba nti: ‘Omuntu ono yatandika okuzimba, n'atasobola kumaliriza?’
Explore LUKKA 14:28-30
6
LUKKA 14:13-14
Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga baavu, bakateeyamba, balema, bamuzibe. Olwo oliba n'omukisa, kubanga tebalina kya kukusasula. Katonda alikusasula ng'abalungi bazuukidde.”
Explore LUKKA 14:13-14
7
LUKKA 14:34-35
“Omunnyo gwa mugaso, naye singa omunnyo gusaabulukuka, gunazzibwamu gutya obuka bwagwo? Guba tegukyagasa mu ttaka, wadde awateekebwa ebigimusa, bagusuula busuuzi. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
Explore LUKKA 14:34-35
Home
Bible
Plans
Videos