LUKKA 14
14
Yesu awonya omulwadde w'entumbi
1Awo olwatuuka, Yesu bwe yayingira ku Sabbaato mu nnyumba y'omu ku bakulembeze b'Abafarisaayo okulya emmere, bo ne bamwekaliriza amaaso. 2Omuntu omulwadde w'entumbi yali awo mu maaso ga Yesu. 3Yesu n'agamba abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo nti: “Kikkirizibwa okuwonya ku Sabbaato, oba nedda?” 4Naye bo ne basirika.
Awo Yesu n'amukwatako, n'amuwonya, n'amusiibula. 5N'agamba nti: “Ani ku mmwe, endogoyi ye oba ente ye bw'egwa mu luzzi atagiggyaamu mangwago ku lunaku lwa Sabbaato?”#Laba ne Mat 12:11 6Ne batayinza kino kukiddamu.
Obwetoowaze ku bugenyi
7Yesu bwe yalaba abayitiddwa ku mbaga nga beeroboza ebifo ebisinga okuba ebyekitiibwa, n'abagerera olugero, n'abagamba nti: 8“Omuntu bw'akuyitanga ku mbaga ey'obugole, totuulanga mu kifo ekisinga okuba ekyekitiibwa, sikulwa nga wabaawo omulala akusinga ekitiibwa ayitiddwa,#Laba ne Nge 25:6-7 9oli eyabayise mwembi, n'ajja n'akugamba nti: ‘Viira ono mu kifo,’ olwo n'ogenda okutuula mu kifo ekisembayo, ng'oswadde. 10Naye bw'oyitibwanga, ogendanga n'otuula mu kifo ekisembayo, oli eyakuyise bw'ajja, alyoke akugambe nti: ‘Munnange, sembera eno waggulu,’ olwo olissibwamu ekitiibwa mu maaso ga bonna b'otudde nabo okulya. 11Buli eyeegulumiza, alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza, aligulumizibwa.”#Laba ne Mat 23:12; Luk 18:14
12Ate n'agamba n'oyo eyamuyita nti: “Bw'ofumbanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo oba baganda bo, oba ab'ekika kyo, oba baliraanwa bo abagagga, si kulwa nga nabo bakuyita, n'osasulwa. 13Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga baavu, bakateeyamba, balema, bamuzibe. 14Olwo oliba n'omukisa, kubanga tebalina kya kukusasula. Katonda alikusasula ng'abalungi bazuukidde.”
Olugero lw'embaga ennene
(Laba ne Mat 22:1-10)
15Awo omu ku baali batudde awamu okulya bwe yawulira ebyo, n'agamba nti: “Wa mukisa oyo alirya emmere mu Bwakabaka bwa Katonda!”
16Yesu n'amugamba nti: “Waaliwo omuntu eyafumba embaga ennene, n'ayita bangi. 17Obudde obw'embaga bwe bwatuuka, n'atuma omuddu we okugamba abayitiddwa nti: ‘Mujje, kubanga byonna bimaze okutegekebwa.’ 18Naye bonna, nga bali ng'abaalagaanye, ne batandika okwewolereza. Eyasooka yagamba nti: ‘Naguze ekibanja, nteekwa okugenda okukirambula. Nkwegayiridde, nsonyiwa.’ 19Omulala n'agamba nti: ‘Naguze emigogo gy'ente etaano, era ŋŋenda kugigeza. Nkwegayiridde, nsonyiwa.’ 20N'omulala n'agamba nti: ‘Nawasizza omukazi, n'olwekyo siyinza kujja.’
21“Awo omuddu n'addayo, bino n'abibuulira mukama we. Olwo nnannyinimu n'asunguwala, n'agamba omuddu we nti: ‘Fuluma mangu, oyiteeyite mu nguudo ne mu buguudo bw'ekibuga, oleete wano abaavu ne bakateeyamba ne bamuzibe n'abalema.’ 22Omuddu n'agamba nti: ‘Mukama wange, kye walagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ekifo.’ 23Mukama w'omuddu oyo n'amugamba nti: ‘Fuluma, oyiteeyite mu makubo ne mu bukubo, obawalirize okuyingira, ennyumba yange ejjule. 24Mbagamba nti ku basajja abo abaabadde bayitiddwa, tewali anaalya ku mbaga yange.’ ”
Okwefiiriza kw'omuyigirizwa wa Kristo
(Laba ne Mat 10:37-38)
25Abantu bangi nnyo baali bagenda ne Yesu, n'abakyukira n'abagamba nti: 26“Singa omuntu ajja gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina, ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, wadde n'obulamu bwe bwennyini, tayinza kuba muyigirizwa wange.#Laba ne Mat 10:37 27Buli ateetikka musaalaba gwe n'angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.#Laba ne Mat 10:38; 16:24; Mak 8:34; Luk 9:23
28“Kale ani ku mmwe aba ayagala okuzimba omunaala, atasooka kutuula n'abalirira ebyetaagibwa, alabe oba ng'alina ebimala? 29Sikulwa ng'amala okuteekawo omusingi, n'atasobola kumaliriza, bonna abalaba ne batandika okumusekerera 30nga bagamba nti: ‘Omuntu ono yatandika okuzimba, n'atasobola kumaliriza?’
31“Oba kabaka ki aba agenda okulwanyisa kabaka omulala mu lutalo, atasooka kutuula n'alowooza oba ng'ayinza, n'abantu omutwalo ogumu, okusisinkana oli amulumba n'abantu emitwalo ebiri? 32Bw'aba nga tayinza, atuma ababaka ng'oli akyali wala, n'asaba batabagane. 33Kale bwe kityo buli omu ku mmwe ateefiiriza byonna by'alina, tayinza kuba muyigirizwa wange.
Omunnyo oguweddemu obuka
(Laba ne Mat 5:13; Mak 9:50)
34“Omunnyo gwa mugaso, naye singa omunnyo gusaabulukuka, gunazzibwamu gutya obuka bwagwo? 35Guba tegukyagasa mu ttaka, wadde awateekebwa ebigimusa, bagusuula busuuzi. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
Currently Selected:
LUKKA 14: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.