Lwali lumu, Yesu bwe yali mu kibuga ekimu, ne wajjawo omusajja ajjudde ebigenge. Bwe yalaba Yesu, n'afukamira, n'amwegayirira nti: “Ssebo, singa oyagala, oyinza okumponya.”
Yesu n'agolola omukono n'amukwatako, n'agamba nti: “Njagala, wona.” Amangwago ebigenge ne bimuwonako.