Awo Sitaani n'atwala Yesu e Yerusaalemu, n'amuteeka ku kitikkiro ky'Essinzizo, n'amugamba nti: “Oba nga ddala oli Mwana wa Katonda, sinziira wano, weesuule wansi eri, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Katonda aliragira bamalayika be bakulabirire;’ era nti: ‘Balikuwanirira mu mikono gyabwe, oleme okwekoona ekigere ku jjinja.’ ”
Yesu n'addamu nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”