LUKKA 4:5-8
LUKKA 4:5-8 LB03
Awo Sitaani n'alinnyisa Yesu waggulu, era mu kaseera buseera n'amulaga obwakabaka bwonna obw'oku nsi. N'amugamba nti: “Nja kukuwa obuyinza okufuga amawanga gano gonna era nkuwe n'ebirungi byonna ebigalimu. Byonna byampeebwa, era gwe njagala gwe mbigabira. Kale nno ggwe singa ofukamira mu maaso gange n'onsinza, byonna bijja kuba bibyo.” Yesu n'amuddamu nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.’ ”