YouVersion Logo
Search Icon

LUKKA 4

4
Okukemebwa kwa Yesu
(Laba ne Mat 4:1-11; Mak 1:12-13)
1Awo Yesu ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'avaayo ku Mugga Yorudaani, Mwoyo Mutuukirivu n'amutwala mu ddungu, 2n'amalayo ennaku amakumi ana ng'akemebwa Sitaani. Mu nnaku ezo teyalyanga n'akatono. Awo bwe zaggwaako, enjala n'emuluma.
3Sitaani n'amugamba nti: “Oba nga ddala oli Mwana wa Katonda, lagira ejjinja lino lifuuke emmere.”
4Yesu n'addamu nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu taba mulamu na mmere yokka.’ ”#Laba ne Ma 8:3
5Awo Sitaani n'alinnyisa Yesu waggulu, era mu kaseera buseera n'amulaga obwakabaka bwonna obw'oku nsi. 6N'amugamba nti: “Nja kukuwa obuyinza okufuga amawanga gano gonna era nkuwe n'ebirungi byonna ebigalimu. Byonna byampeebwa, era gwe njagala gwe mbigabira. 7Kale nno ggwe singa ofukamira mu maaso gange n'onsinza, byonna bijja kuba bibyo.”
8Yesu n'amuddamu nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.’ ”#Laba ne Ma 6:13
9Awo Sitaani n'atwala Yesu e Yerusaalemu, n'amuteeka ku kitikkiro ky'Essinzizo, n'amugamba nti: “Oba nga ddala oli Mwana wa Katonda, sinziira wano, weesuule wansi eri, 10kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Katonda aliragira bamalayika be bakulabirire;’#Laba ne Zab 91:11 11era nti: ‘Balikuwanirira mu mikono gyabwe, oleme okwekoona ekigere ku jjinja.’ ”#Laba ne Zab 91:12
12Yesu n'addamu nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”#Laba ne Ma 6:16
13Sitaani ng'amaze okukema Yesu mu buli ngeri, n'amuleka okumala ekiseera.
Yesu atandika okuyigiriza mu Galilaaya
(Laba ne Mat 4:12-17; Mak 1:14-15)
14Awo Yesu n'addayo mu Galilaaya ng'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu gali naye. Ettutumu lye ne libuna mu kitundu ekyo kyonna. 15N'ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe, bonna ne bamutendereza.
Yesu e Nazaareeti
(Laba ne Mat 13:53-58; Mak 6:1-6)
16Awo Yesu n'ajja e Nazaareeti gye yakulira. Ku lunaku lwa Sabbaato, n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, nga bwe yali amanyidde okukola. N'asituka okusoma ebyawandiikibwa. 17Ne bamukwasa ekitabo kya Yisaaya omulanzi. Bwe yakibikkula, n'atuuka awawandiikiddwa nti:
18“Omwoyo gwa Mukama
guli ku nze,
kubanga yanjawula
okutegeeza abaavu Amawulire Amalungi.
Yantuma okutegeeza abasibe
nti bajja kuteebwa,
ne bamuzibe
nti bajja kulaba.
Era yantuma okuwonya
abanyigirizibwa,#Laba ne Yis 61:1-2
19n'okulangirira ekiseera kya Mukama
eky'okukwatirwamu abantu ekisa.”
20Awo Yesu bwe yabikkako ekitabo, n'akiddiza omuweereza, era n'atuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso. 21Awo n'atandika okubagamba nti: “Olwaleero kino ekyawandiikibwa kye muwulidde, kituukiridde.”
22Bonna ne bamusemba, era ne beewuunya olw'ebigambo ebirungi bye yayogera, ne bagamba nti: “Ono si ye mutabani wa Yosefu?”
23Yesu n'abagamba nti: “Ddala mujja kundeetera olugero olugamba nti: ‘Omusawo, weewonye.’ Era mujja kuŋŋamba nti: ‘Bye wakolera e Kafarunawumu, bye twawulira, bikolere na wano mu kibuga ky'ewammwe.’ ”
24Era n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti tewali mulanzi ayanirizibwa mu kitundu ky'ewaabwe.#Laba ne Yow 4:44 25Naye ge mbagamba ge mazima nti mu mirembe gya Eliya waaliwo bannamwandu bangi mu Yisirayeli. Mu biseera ebyo, eggulu lyesiba, enkuba n'etetonnya okumala emyaka esatu n'emyezi mukaaga, enjala n'egwa nnyingi mu nsi yonna.#Laba ne 1 Bassek 17:1 26Kyokka Eliya teyatumibwa wadde ew'omu ku bo, wabula yatumibwa wa nnamwandu e Sareputa mu nsi y'e Sidoni.#Laba ne 1 Bassek 17:8-16 27Era mu mirembe gya Elisa omulanzi waaliwo abagenge bangi mu Yisirayeli, kyokka tewaali n'omu ku bo yawonyezebwa, wabula Naamani yekka Omusiriya.”#Laba ne 2 Bassek 5:1-14
28Abantu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro bwe baawulira ebyo, ne bajjula obusungu, 29ne basituka, ne bamuggya mu kibuga nga bamusindiikiriza, ne bamutwala ku kagulungujjo k'olusozi olwazimbibwako ekibuga kyabwe, balyoke bamukasuke wansi. 30Kyokka Yesu n'abayitamu wakati, n'agenda.
Omuntu aliko omwoyo omubi
(Laba ne Mak 1:21-28)
31Awo Yesu n'agenda e Kafarunawumu, ekibuga eky'omu Galilaaya. Ku lunaku lwa Sabbaato n'abayigiriza. 32Ne beewuunya nnyo engeri gye yayigirizaamu: yayigiriza nga nnannyinibuyinza.#Laba ne Mat 7:28-29 33Mu kkuŋŋaaniro mwalimu omuntu eyaliko omwoyo omubi, n'aleekaana nnyo nti: 34“Otulanga ki ggwe Yesu Omunazaareeti? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi. Ggwe Mutuukirivu wa Katonda.” 35Yesu n'aboggolera omwoyo omubi nti: “Sirika mangu, n'omuntu ono muveeko.” Omwoyo omubi bwe gwamala okusuula omuntu oyo wakati waabwe, ne gumuvaako nga tegulina kabi konna ke gumukoze.
36Bonna ne batya, ne beebuuzaganya nti: “Ekigambo kye kya ngeri ki? Olaba emyoyo emibi agiragiza maanyi na buyinza ne giva ku bantu!” 37Ettutumu lye ne libuna wonna wonna mu kitundu ekyo.
Yesu awonya abantu bangi
(Laba ne Mat 8:14-17; Mak 1:29-34)
38Awo Yesu n'ava mu kkuŋŋaaniro, n'ayingira mu nnyumba ya Simooni. Nnyina muka Simooni yali alwadde omusujja mungi. Ne beegayirira Yesu amuwonye. 39Yesu n'agenda n'ayimirira awali omulwadde, n'alagira omusujja ne guwona. Amangwago abadde omulwadde n'ayimuka, n'atandika okubaweereza.
40Enjuba ng'egudde, bonna abaalina abalwadde ab'endwadde eza buli ngeri, ne babaleeta awali Yesu, n'akwata ku buli mulwadde n'amuwonya. 41Emyoyo emibi nagyo ne giva ku bantu bangi, nga gireekaana nti: “Ggwe Mwana wa Katonda!” Yesu n'agiboggolera, n'atagikkiriza kwogera, kubanga gyali gimumanyi nti ye Kristo.
Yesu mu Buyudaaya
(Laba ne Mak 1:35-39)
42Obudde bwe bwakya, Yesu n'alaga mu kifo ekitaalimu bantu. Abantu bangi ne bamunoonya okutuusa lwe baamulaba, era ne bagezaako okumuziyiza aleme okubavaako. 43Kyokka ye n'abagamba nti: “Ebibuga ebirala nabyo nteekwa okubitegeeza Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka bwa Katonda, kubanga natumibwa lwa nsonga eyo.”
44Awo n'ategeeza abantu ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'omu Buyudaaya.

Currently Selected:

LUKKA 4: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in