LUKKA 3
3
Yowanne Omubatiza
(Laba ne Mat 3:1-12; Mak 1:1-8; Yow 1:19-28)
1Mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ogw'obufuzi bwa Kayisaari Tiberiyo, nga Pontiyo Pilaato ye afuga Buyudaaya, nga Herode ye afuga Galilaaya, nga muganda we Filipo ye afuga ekitundu eky'e Yituraya ne Trakoniti; nga Lisaniya ye afuga Abileene, 2nga Anna ne Kayaafa be bassaabakabona, Yowanne mutabani wa Zakariya yali mu ddungu, n'afuna ekigambo kya Katonda. 3Olwo n'atambula okubuna ekitundu kyonna ekiriraanye Omugga Yorudaani, ng'agamba abantu nti: “Mwenenye, mubatizibwe, Katonda abasonyiwe ebibi byammwe.” 4Bino byabaawo nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'ebigambo bya Yisaaya omulanzi nti:
“Waliwo eddoboozi ly'oyo
ayogerera mu ddungu
n'eddoboozi ery'omwanguka nti:
‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
mutereeze amakubo ge.#Laba ne Yis 40:3-5
5Buli kiwonvu kijjuzibwe;
buli lusozi na buli kasozi
biseeteezebwe.
Amakubo amakyamu gagololwe,
n'agalimu ebisirikko gatereezebwe.
6Olwo abantu bonna bajja kulaba
nga Katonda bw'abalokola.’ ”
7Abantu bangi nnyo baagendanga eri Yowanne ababatize, ye n'abagamba nti: “Mmwe abaana b'emisota egy'obusagwa, ani abalabudde nti eno y'engeri ey'okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja?#Laba ne Mat 12:34; 23:33 8Mukole nno ebikolwa ebiraga nti mwenenyezza ebibi byammwe. Mulekere awo okweyinula nti tulina kitaffe Aburahamu, kubanga mbagamba nti Katonda asobola okufunira Aburahamu abazzukulu, ng'abaggya mu mayinja gano.#Laba ne Yow 8:33 9Mufaanaanyirizibwa n'emiti. Kati embazzi eteekeddwa ku kikolo kya buli muti. Ogwo ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa, era gusuulibwe mu muliro.”#Laba ne Mat 7:19
10Awo abantu ne bamubuuza nti: “Kale tukole ki?” 11N'abaddamu nti: “Alina engoye ebbiri aweeko atalina, era alina emmere naye akole bw'atyo.”
12Abasolooza b'omusolo nabo ne bajja okubatizibwa, ne bamubuuza nti: “Omuyigiriza, ffe tukole ki?”#Laba ne Luk 7:29 13N'abaddamu nti: “Temusoloozanga kinene okusinga ekibalagirwa.”
14Abaserikale nabo ne bamubuuza nti: “Ate ffe tukole ki?” N'abagamba nti: “Abantu temubanyagangako byabwe, era temubawaayirizanga misango gye batazzizza. Mukomenga ku kufuna misaala gyammwe gyokka.”
15Awo abantu bonna ne batandika okulowooza mu mitima gyabwe nti Yowanne, oba oli awo ye Kristo. 16Yowanne n'ategeeza bonna nti: “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ansinga obuyinza ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze. Ye, alibabatiza na Mwoyo Mutuukirivu era na muliro. 17Akutte mu ngalo ekibbo ekiwewa, ayawule empeke n'ebisusunku, empeke azikuŋŋaanyize mu tterekero lye, ate byo ebisusunku abyokye omuliro ogutazikira.”
18Bw'atyo Yowanne, yayigirizanga abantu mu ngeri nnyingi, ng'abategeeza Amawulire Amalungi. 19Era yanenya omufuzi Herode, olwa Herodiya muka muganda we, n'olw'ebibi ebirala byonna Herode bye yakola.#Laba ne Mat 14:3-4; Mak 6:17-18 20Ate ku ebyo byonna, Herode n'ayongerako n'eky'okuggalira Yowanne mu kkomera.
Okubatizibwa kwa Yesu
(Laba ne Mat 3:13-17; Mak 1:9-11)
21Awo olwatuuka, abantu abalala bonna bwe baali nga bamaze okubatizibwa, Yesu naye ng'abatiziddwa, era bwe yali ng'asinza Katonda, eggulu ne libikkuka, 22era Mwoyo Mutuukirivu, ng'afaananira ddala ejjiba, n'akka ku ye. Era eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala.”#Laba ne Nta 22:2; Zab 2:7; Yis 42:1; Mat 3:17; Mak 1:11; Luk 9:35
Olulyo lwa Yesu
(Laba ne Mat 1:1-17)
23Yesu yatandika omulimu gwe ogw'okuyigiriza, ng'aweza emyaka ng'amakumi asatu, abantu nga bamuyita mutabani wa Yosefu. Yosefu ono yali mutabani wa Eli, 24Eli mutabani wa Mattati, Mattati mutabani wa Leevi, Leevi mutabani wa Meleki, Meleki mutabani wa Yannayi, Yannayi mutabani wa Yosefu, 25Yosefu mutabani wa Mattatiya, Mattatiya mutabani wa Amosi, Amosi mutabani wa Nawumu, Nawumu mutabani wa Esili, Esili mutabani wa Nangayi.
26Nangayi yali mutabani wa Maati, Maati mutabani wa Mattatiya, Mattatiya mutabani wa Semeeyi, Semeeyi mutabani wa Yoseki, Yoseki mutabani wa Yoda, 27Yoda mutabani wa Yowanani, Yowanani mutabani wa Resa, Resa mutabani wa Zerubabbeeli, Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, Seyalutiyeli mutabani wa Neri, 28Neri mutabani wa Meleki, Meleki mutabani wa Addi, Addi mutabani wa Kosamu, Kosamu mutabani wa Elimadamu, Elimadamu mutabani wa Eri.
29Eri yali mutabani wa Yeswa, Yeswa mutabani wa Eliyezeeri, Eliyezeeri mutabani wa Yorimu, Yorimu mutabani wa Mattati, Mattati mutabani wa Leevi, 30Leevi mutabani wa Simyoni, Simyoni mutabani wa Yuda, Yuda mutabani wa Yosefu, Yosefu mutabani wa Yonamu, Yonamu mutabani wa Eliyakimu, 31Eliyakimu mutabani wa Meleya, Meleya mutabani wa Menna, Menna mutabani wa Mattata, Mattata mutabani wa Natani, Natani mutabani wa Dawudi, 32Dawudi mutabani wa Yesse, Yesse mutabani wa Yobedi, Yobedi mutabani wa Bowaazi, Bowaazi mutabani wa Salumooni, Salumooni mutabani wa Nasoni.
33Nasoni yali mutabani wa Amminadabu, Amminadabu mutabani wa Adimiini, Adimiini mutabani wa Aruni, Aruni mutabani wa Hezirooni, Hezirooni mutabani wa Pereezi, Pereezi mutabani wa Yuda, 34Yuda mutabani wa Yakobo, Yakobo mutabani wa Yisaaka, Yisaaka mutabani wa Aburahamu, Aburahamu mutabani wa Teera, Teera mutabani wa Nahori, 35Nahori mutabani wa Serugi, Serugi mutabani wa Rewu, Rewu mutabani wa Pelegi, Pelegi mutabani wa Eberi, Eberi mutabani wa Seela.
36Seela yali mutabani wa Kayinaani, Kayinaani mutabani wa Arupakusaadi, Arupakusaadi mutabani wa Seemu, Seemu mutabani wa Noowa, Noowa mutabani wa Lameka. 37Lameka mutabani wa Metuseela, Metuseela mutabani wa Enoka, Enoka mutabani wa Yaredi, Yaredi, mutabani wa Malaleeli, Malaleeli mutabani wa Kayinaani, 38Kayinaani mutabani wa Enosi, Enosi mutabani wa Seeti, Seeti mutabani wa Adamu, Adamu mutabani wa Katonda.
Currently Selected:
LUKKA 3: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.