YouVersion Logo
Search Icon

LUKKA 2

2
Okuzaalibwa kwa Yesu
(Laba ne Mat 1:19-25)
1Awo olwatuuka, mu nnaku ezo, Kayisaari Agusto n'afulumya ekirangiriro nti abantu bonna ab'omu matwale ge beewandiise, babalibwe. 2Okwewandiisa kuno okubereberye, kwabaawo nga Kiriniyo ye afuga ekitundu eky'e Siriya. 3Awo buli omu n'agenda okwewandiisa gy'asibuka.
4Ne Yosefu n'ava mu kibuga Nazaareeti, eky'omu Galilaaya, n'agenda mu Buyudaaya, mu kibuga Dawudi kye yazaalibwamu, ekiyitibwa Betilehemu, kubanga Yosefu yali muzzukulu wa Dawudi. 5Yagenda okwewandiisa awamu ne Mariya gwe yali ayogereza. Mariya yali lubuto, 6era bwe baali bali eyo, ennaku ze ez'okuzaala ne zituuka. 7N'azaala omwana we omuggulanda, wa bulenzi, n'amubikka mu bugoye, n'amuzazika mu mmanvu ebisolo mwe biriira, kubanga mu nnyumba y'abagenyi tebaafunamu kifo.
Abasumba ne bamalayika
8Mu kitundu ky'ensi ekyo, mwalimu abasumba abaasulanga ku ttale, nga bakuuma amagana gaabwe ekiro, mu mpalo. 9Awo malayika wa Mukama n'abalabikira, n'ekitiibwa kya Mukama ne kyakaayakana okubeetooloola. Ne batya nnyo! 10Naye malayika n'abagamba nti: “Temutya, kubanga mbaleetera amawulire amalungi, ag'essanyu eringi eri abantu bonna. 11Olwaleero, mu kibuga kya Dawudi, Omulokozi abazaaliddwa. Ye Kristo, Mukama. 12Kano ke kabonero ke munaamutegeererako: mujja kusanga omwana omuwere abikkiddwa mu bugoye, ng'azazikiddwa mu mmanvu ebisolo mwe biriira.”
13Amangwago awaali malayika oyo, ne wajjawo ne bamalayika abalala bangi ab'omu ggye ery'omu ggulu. Ne batendereza Katonda nga bayimba nti:
14“Ekitiibwa kibe
eri Katonda mu ggulu!
Ne ku nsi, emirembe gibe
mu bantu Katonda b'asiima!”
15Bamalayika bwe baamala okwawukana ku basumba, ne baddayo mu ggulu. Awo abasumba ne bagambagana nti: “Tugende e Betilehemu, tulabe ekintu kino ekibaddewo, Mukama ky'atutegeezezza.”
16Ne bagendayo mangu, ne basanga Mariya ne Yosefu, n'omwana omuwere ng'azazikiddwa mu mmanvu ebisolo mwe biriira. 17Bwe baamala okulaba omwana, ne bategeeza bonna ebyo ebyali bibabuuliddwa ku mwana oyo. 18Bonna abaabiwulira ne beewuunya abasumba bye baayogera. 19Naye Mariya ebigambo ebyo byonna n'abikuuma mu mutima gwe, era n'abirowoozangako nnyo.
20Awo abasumba ne baddayo nga bagulumiza era nga batendereza Katonda, olw'ebyo bye bawulidde, ne bye balabye. Byonna byali ddala nga malayika bwe yali abibabuulidde.
Omwana atuumibwa erinnya
21Awo ennaku omunaana bwe zaatuuka omwana okukomolebwa, n'atuumibwa erinnya Yesu, malayika lye yayita omwana ono nga tannaba mu lubuto.#Laba ne Leev 12:3; Luk 1:31
Yesu atwalibwa mu Ssinzizo
22Awo Yosefu ne Mariya bwe baatuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwabwe, eziragirwa mu Mateeka ga Musa, ne batwala omwana Yesu e Yerusaalemu okumwanjula eri Mukama,#Laba ne Leev 12:6-8 23nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka lya Mukama nti: “Buli mwana ow'obulenzi omuggulanda, anaawongerwanga Mukama.”#Laba ne Kuv 13:2,12 24Era baagenda okuwaayo eky'okutambira, ng'etteeka lya Mukama bwe liragira: enjiibwa bbiri oba amayiba amato abiri.
25Mu Yerusaalemu mwalimu omuntu erinnya lye Simyoni. Yali muntu mulungi, ng'assaamu Katonda ekitiibwa, era ng'alindirira okununulwa kwa Yisirayeli. Era yali ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu. 26Mwoyo Mutuukirivu yali amumanyisizza nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo wa Mukama. 27Awo Simyoni n'ajja mu Ssinzizo, nga Mwoyo Mutuukirivu ye amugambye. Abazadde bwe baatuusa omwana Yesu mu Ssinzizo okutuukiriza etteeka, 28Simyoni n'asitula omwana mu mikono gye, n'atendereza Katonda ng'agamba nti:
29“Kaakano Mukama wange,
kye wasuubiza okituukirizza.
Leka omuddu wo ŋŋende mirembe,
30kubanga amaaso gange galabye Omulokozi wo
31gwe wategekera abantu bonna,
32abe ekitangaala ekimulisa amawanga,
era abe ekitiibwa ky'abantu bo, Abayisirayeli.”#Laba ne Yis 42:6; 49:6; 52:10
33Kitaawe ne nnyina w'omwana ne bawuniikirira olw'ebigambo ebimufaako, Simyoni bye yayogera. 34Awo Simyoni n'abaagaliza emikisa, ate n'agamba Mariya, nnyina w'omwana nti: “Omwana ono ateekeddwawo, bangi mu Yisirayeli bagwe, ate bangi bayimuke. Era ajja kuba akabonero ke bajja okuwakanya, 35bwe batyo balage ebirowoozo by'emitima gyabwe. Era naawe ennaku eri ng'ekitala ekyogi, erikufumita omutima.”
36Era waaliwo omulanzi, omukazi erinnya lye Anna, muwala wa Fanuweli, ow'omu Kika kya Aseeri. Yali mukazi mukadde. Yafumbirwa nga muwala muto, n'amala emyaka musanvu mu bufumbo. 37Okuva olwo yali yaakamala emyaka kinaana mu ena nga nnamwandu. Teyavanga mu Ssinzizo. Emisana n'ekiro yabeeranga mu kuweereza Katonda na mu kumwegayirira, era ng'asiiba. 38Awo n'atuuka mu kiseera ekyo kyennyini, n'atendereza Katonda. Era abo bonna abaali balindirira okununulwa kwa Yerusaalemu, n'ababuulira ebifa ku mwana ono.
39Bwe baamala okutuukiriza byonna ebiragirwa mu tteeka lya Mukama, ne baddayo e Galilaaya mu kibuga ky'ewaabwe, e Nazaareeti.#Laba ne Mat 2:23 40Awo omwana ne yeeyongera okukula, n'aba wa maanyi, ng'ajjudde amagezi n'emikisa gya Katonda.
Omwana Yesu mu Ssinzizo
41Abazadde ba Yesu baagendanga buli mwaka e Yerusaalemu, ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako.#Laba ne Kuv 12:1-27; Ma 16:1-8 42Yesu bwe yaweza emyaka ekkumi n'ebiri, ne bambuka e Yerusaalemu nga bwe baakolanga mu kiseera eky'Embaga. 43Bwe baali baddayo ewaabwe, ng'ennaku ez'Embaga ziweddeko, omwana Yesu n'asigala mu Yerusaalemu, bazadde be nga tebategedde. 44Bwe baamala okutambula olugendo lwa lunaku lulamba, nga balowooza nti ali mu kibiina ky'abantu be baali batambula nabo, olwo ne bamunoonya mu baganda baabwe ne mu mikwano gyabwe. 45Bwe bataamuzuula, ne baddayo e Yerusaalemu nga bamunoonya. 46Waayitawo ennaku ssatu, ne bamuzuula mu Ssinzizo, ng'atudde n'abayigiriza, ng'abawuliriza era ng'ababuuza ebibuuzo. 47Bonna abaamuwuliriza, beewuunya olw'amagezi ge n'okuddamu kwe.
48Bazadde be bwe baamulaba, ne bawuniikirira. Nnyina n'amugamba nti: “Mwana wange, lwaki otukoze bw'oti? Kitaawo nange tubadde tukunoonya nga tweraliikirira.” 49Ye n'abagamba nti: “Lwaki mubadde munnoonya? Temumanyi nti nteekwa okukola ku bya Kitange?” 50Naye bo ne batategeera ky'abagambye.
51Awo n'aserengeta nabo e Nazaareeti, era n'abawuliranga. Nnyina n'akuumanga bino byonna mu mutima gwe. 52Awo Yesu ne yeeyongera okukula, era ne yeeyongera mu magezi n'okusiimibwa Katonda n'abantu.#Laba ne 1 Sam 2:26; Nge 3:4

Currently Selected:

LUKKA 2: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in