1
LUKKA 2:11
Luganda Bible 2003
Olwaleero, mu kibuga kya Dawudi, Omulokozi abazaaliddwa. Ye Kristo, Mukama.
Compare
Explore LUKKA 2:11
2
LUKKA 2:10
Naye malayika n'abagamba nti: “Temutya, kubanga mbaleetera amawulire amalungi, ag'essanyu eringi eri abantu bonna.
Explore LUKKA 2:10
3
LUKKA 2:14
“Ekitiibwa kibe eri Katonda mu ggulu! Ne ku nsi, emirembe gibe mu bantu Katonda b'asiima!”
Explore LUKKA 2:14
4
LUKKA 2:52
Awo Yesu ne yeeyongera okukula, era ne yeeyongera mu magezi n'okusiimibwa Katonda n'abantu.
Explore LUKKA 2:52
5
LUKKA 2:12
Kano ke kabonero ke munaamutegeererako: mujja kusanga omwana omuwere abikkiddwa mu bugoye, ng'azazikiddwa mu mmanvu ebisolo mwe biriira.”
Explore LUKKA 2:12
6
LUKKA 2:8-9
Mu kitundu ky'ensi ekyo, mwalimu abasumba abaasulanga ku ttale, nga bakuuma amagana gaabwe ekiro, mu mpalo. Awo malayika wa Mukama n'abalabikira, n'ekitiibwa kya Mukama ne kyakaayakana okubeetooloola. Ne batya nnyo!
Explore LUKKA 2:8-9
Home
Bible
Plans
Videos