Awo olwatuuka, abantu abalala bonna bwe baali nga bamaze okubatizibwa, Yesu naye ng'abatiziddwa, era bwe yali ng'asinza Katonda, eggulu ne libikkuka, era Mwoyo Mutuukirivu, ng'afaananira ddala ejjiba, n'akka ku ye. Era eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala.” 9:35