Olubereberye 19
19
Obwonoonefu bwe Sodoma
1Bamalayika ababiri bwe batuuka e Sodoma akawungeezi; Lutti yali atudde ku mulyango awayingirirwa mu kibuga Sodoma. Lutti n'abalaba, n'asituka okubasisinkana; n'avuunama mu maaso gaabwe.#Lub 18:2,22 2N'abagamba nti, “Bakama bange, mbeegayiridde mukyame, muyingire ew'omuddu wammwe, munaabe ku bigere era musule. Bwe bunaakya ku makya mulyoke mugende.” Ne baddamu nti, “Nedda, tugenda kusula ku luguudo mu kibuga.”#Lub 18:4, Luk 24:28, Beb 13:2 3N'abeegayirira nnyo, ne bakkiriza ne bakyama ewuwe, ne bayingira mu nnyumba ye; n'abafumbira embaga, nga kuliko emigaati egitazimbulukusiddwa, ne balya. 4Naye ng'abagenyi tebanneebaka abasajja ab'omu kibuga Sodoma, abato n'abakulu abaava mu bifo byonna, ne bazingiza ennyumba. 5Ne bayita Lutti, ne bamubuuza nti, “Abasajja abaayingidde ewuwo ekiro kino bali ludda wa? Bafulumye obatuwe twegatte nabo.”#Balam 19:22, Is 3:9, Bar 1:24,27, Yud 7 6Lutti n'afuluma ebweru gyebali, n'aggalawo oluggi. 7N'ayogera nti, “Mbeegayiridde, baganda bange, temukola bubi obwenkanidde wano. 8Laba nno, nnina abaana bange abawala babiri embeerera. Ka mbafulumye gye muli, mubakole kye mwagala. Naye temubaako kye mukola ku basajja abo, kubanga bagenyi mu maka gange, nteekwa okubakuuma.”#Balam 19:24 9Ne boogera nti, “Vvaawo, Olusajja luno olwasenga obusenzi kuno, kati lwe lutuwa ebiragiro? Kaakano ggwe tujja ku kukola bubi okusinga abo.” Awo Lutti ne bamunyigiriza nnyo, ne basembera okumenya oluggi.#Lub 13:13, Kuv 2:14, Bik 7:26-28 10Naye abasajja ababiri abaali mu nnyumba ne basikayo Lutti, ne bamuyingiza ne baggalawo oluggi. 11Ne baziba amaaso g'abasajja abato n'abakulu abaali ebweru ku luggi, ne bawamanta, ne balemwa okuzuula oluggi we luli.#2 Bassek 6:18
Lutti ava mu Sodoma
12Abasajja ne babuuza Lutti nti, “Olinayo wano abantu abalala? Mukoddomi wo, n'abaana bo, ab'obulenzi n'ab'obuwala, ne bonna b'olina mu kibuga; baggye mu kifo kino.#2 Peet 2:9 13Mukama atutumye okuzikiriza ekifo kino, kubanga awulidde okwemulugunya kw'abantu, olw'obubi obungi obukirimu.”#Lub 18:20 14Lutti n'afuluma n'ayogera n'abasajja abaali bagenda okuwasa bawala be, n'abagamba nti, “Mugolokoke, muve mu kifo kino; kubanga Mukama agenda kuzikiriza ekibuga.” Naye bo ne batafaayo nga balowooza nti asaaga busaazi.#Kubal 16:21,26, Kub 18:4 15Awo bwe bwakya enkya, bamalayika ne bapapya Lutti, nga boogera nti, “situka, otwale mukazi wo, n'abaana bo abawala bombi abali wano; oleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu obw'ekibuga.”#Yer 51:6 16Naye Lutti bwe yeekunya; Mukama n'amusaasira, abasajja ne balyoka bakwata ku mukono gwa Lutti, ne mukazi we, ne bawala be bombi, ne babafulumya ebweru w'ekibuga.#Zab 32:10; 34:22, 2 Peet 2:7,8 17Awo bwe baamala okubaggiramu ddala, omu ku basajja n'abagamba nti, “Mudduke muleme okufa; temutunula mabega, era temulwa mu lusenyi lwonna; muddukire ku lusozi, muleme okuzikirizibwa.”#Lub 19:26, Mat 24:16-18 18Lutti n'addamu nti, “Nedda mukama wange, nkwegayiridde; 19omuddu wo alabye ekisa mu maaso go n'omuwonya okufa. Naye olusozi luli wala! Nnaaba sinnatuukayo, akabi ne kantuukako, ne nfa. 20Akabuga ako akatono okalaba? Ke kali okumpi. Ndeka nzirukire omwo, nneme okufa.” 21N'amugamba nti, “Kale nkukkirizza, sijja kuzikiriza kabuga k'oyogeddeko. 22Naye yanguwako, oddukire omwo; kubanga sijja kukola kintu kyonna nga tonnatuukamu.” Akabuga ako ne katuumibwa erinnya Zowaali.#19:22: Zowaali Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Ekitono.” 23Lutti we yatuukira mu Zowaali, enjuba yali ng'evuddeyo.
24Mukama n'alyoka atonnyesa ku Sodoma ne ku Ggomola omuliro n'obuganga nga biva mu ggulu;#Ma 29:23, Is 13:19, Yer 50:40, Zef 2:9, Luk 17:29, 2 Peet 2:6, Yud 7 25Mukama n'alyoka azikiriza ebibuga ebyo byombi, n'olusenyi lwonna, n'abantu bonna abaabirimu, n'ebimera byonna ebyali ku ttaka. 26Lutti yali akulembeddemu, naye mukaziwe eyali amugoberera, n'atunula emabega, n'afuuka empagi ey'omunnyo.#Lub 19:17 27Bwe bwakya enkya Ibulayimu n'agenda mu kifo kiri mwe yasisinkanira Mukama.#Lub 18:22 28N'atunuulira Sodoma n'e Ggomola, n'ensi yonna ey'olusenyi, n'alengera omukka nga gunyooka ng'ogw'ekikoomi nga guva ku nsi.
29Awo Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby'omu lusenyi, Lutti mwe yabeeranga, Katonda n'ajjukira Ibulayimu; n'akkiriza Lutti ave mu bibuga ebyo aleme okufa.#Lub 8:1
Ensibuko y'Abamowabu n'Abamoni
30Lutti yatya okubeera mu Zowaali, kyeyava ayambuka ku lusozi n'abeeranga mu mpuku ne bawala be bombi.#Lub 19:17,19 31Olunaku lumu, omuwala omubereberye n'agamba muto we nti, “Kitaffe akaddiye, so tewali musajja mu nsi eno wa kutuwasa ng'empisa y'ensi yonna bw'eri. 32Kale, tunywese kitaffe omwenge atamiire, tulyoke twegatte naye tuzaale abaana tukuume ezzadde lye.” 33Awo ne banywesa kitaabwe omwenge ekiro ekyo; n'omubereberye n'ayingira, n'eyegatta ne kitaawe; kyokka kitaabwe yali atamidde nnyo n'atakimanya. 34Awo ku lunaku olwaddako, omubereberye n'agamba omuto nti, “Laba, ekiro n'egasse ne kitange; era tumunywese omwenge n'ekiro kino; naawe oyingire weegatte naye, tukuume ezzadde lya kitaffe.” 35Era ne banywesa kitaabwe omwenge ekiro ekyo; n'omuto ne yeegatta naye; era kitaabwe yali atamidde nnyo n'atakimanya. 36Bwe batyo abaana ba Lutti bombi abawala ne baba embuto za kitaabwe. 37Omubereberye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Moabu;#19:37: Moabu Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Eyava mu kitange.” oyo ye jjajja w'Abamoabu ne kaakano.#Ma 2:9 38Era n'omuto naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Benami;#19:38: Benami Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Omwana ow'oluganda.” oyo ye jjajja w'abaana ba Amoni ne kaakano.#Ma 2:19
Currently Selected:
Olubereberye 19: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.