Olubereberye 24
24
Isaaka Awasa Lebbeeka
1Ibulayimu yali ayitiridde obukadde, naye mukama yamuwanga omukisa mu bigambo byonna.#Lub 24:35 2Ibulayimu n'agamba omuddu we omukulu era eyafuganga byonna bye yalina nti, “Nkwegayiridde, ssa omukono gwo wansi w'ekisambi kyange;#Lub 15:2; 24:9-10; 47:29 3nkulayize Mukama Katonda w'eggulu n'ensi, nga toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Bakanani be ntuulamu;#Kuv 34:16, Ma 7:3, 2 Kol 6:14 4naye ogendanga mu nsi gye nnazaalibwamu eri baganda bange, n'owasiza eyo omwana wange Isaaka omukazi.”#Lub 11:31 5Omuddu n'amugamba nti, “Omukazi bw'atalikkiriza kujja nange mu nsi eno, olwo omwana wo gwe nditwala mu nsi gye wavaamu?” 6Ibulayimu n'amugamba nti, “Tozzangayo mwana wange n'akatono. 7Mukama, Katonda w'eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi mwe nnazaalirwa, era eyayogera nange, nandayirira, ng'agamba nti, ‘Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno;’ oyo alituma malayika we okukukulembera, naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva eyo.#Lub 12:1,7, Kuv 23:20 8Naye omukazi bw'atalikkiriza kujja naawe, kale nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange kino; Naye ky'otetantalanga kwe kuzzaayo omwana wange.”#Yos 2:17-20 9Omuddu n'assa omukono gwe wansi w'ekisambi kya Ibulayimu mukama we, n'amulayirira mu kigambo ekyo.#Lub 24:2 10Omuddu n'atwala kkumi (10) ku ŋŋamira za Mukama we, n'ebintu byonna ebirungi byaggye ewa mukama we, n'agenda e Mesopotamiya, mu kibuga kya Nakoli.#Lub 27:43 11Bwe yatuukayo, n'afukamiza eŋŋamira ebweru w'ekibuga, awali oluzzi. Obudde bwali buwungeera nga butuuse abakazi we bafulumiranga okusena amazzi.#Kuv 2:16 12N'ayogera nti, “Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ompe, nkwegayiridde, omukisa leero, olage ekisa mukama wange Ibulayimu.#Lub 24:27,42,48; 27:20 13Laba, nnyimiridde ku luzzi; abaana abawala ab'omukibuga we bajja okusena amazzi; 14kale kibeere bwe kiti; omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde, ssa ensuwa yo ompe ku mazzi nnywe;’ n'agamba nti, ‘nywa, era n'eŋŋamira zo n'azisenera nezinywa;’ abeera nga ye oyo gw'olondedde omuddu wo Isaaka. Ekyo kwe naategeerera ng'okoledde mukama wange eby'ekisa.”#Lub 25:8, Balam 6:17-22
15Kale olwatuuka, bwe yali ng'akyayogera, laba, Lebbeeka n'afuluma, eyazaalirwa Bessweri omwana wa Mirika, mukazi wa Nakoli, muganda wa Ibulayimu, ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye.#Lub 11:29; 22:23 16N'omuwala yali mulungi nnyo okulaba, omuwala omuto, so nga tewali musajja eyamumanya: n'aserengeta ku nsulo, n'ajjuza ensuwa ye, n'ayambuka.#Lub 26:7 17Omuddu n'adduka mbiro okumusisinkana, n'amugamba nti, “nkwegayiridde, Mpa ku mazzi nywe okuva mu nsuwa yo.” 18N'amuddamu nti, “Nywa, mukama wange;” n'ayanguwa n'assa ensuwa ye ku mukono gwe n'amunywesa. 19Awo bwe yamala okumunywesa, n'ayogera nti, “Nnaasenera n'eŋŋamira zo zinywe zikkute.” 20N'ayanguwa n'afuka ensuwa ye mu kyesero, n'adduka nate ku luzzi okusena, n'asenera eŋŋamira ze zonna. 21Omusajja n'amwekaliriza amaaso, ng'asirise, okutegeera nga Mukama awadde olugendo lwe omukisa oba nga taluwadde.
22Awo olwatuuka, eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n'addira empeta eya zaabu obuzito bwayo kitundu kya sekeri, n'emisagga egy'okubanga ku mikono gye obuzito bwagyo sekeri kkumi (10) eza zaabu; 23n'ayogera nti, “Ggwe oli mwana w'ani? Mbuulira nkwegayiridde. Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ebbanga ffe okusula omwo?” 24N'amugamba nti, “Nze ndi mwana wa Bessweri omwana wa Mirika, gwe yazaalira Nakoli.” 25Era nate n'amugamba nti, “Tulina essubi era n'eby'okulya ebinaazimala, era n'ebbanga ery'okusulamu.” 26Omusajja n'akutama, n'asinza Mukama.#Lub 24:48,52, Kuv 4:31 27N'ayogera nti, “Mukama yeebazibwe, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ataleka kusaasira kwe n'amazima ge eri mukama wange; nze, Mukama annuŋŋamizza mu kkubo eri ennyumba ya baganda ba mukama wange.”#Lub 24:12,48; 32:10 28Omuwala n'adduka, n'abuulira ab'omu nnyumba ya nnyina ng'ebigambo ebyo bwe biri. 29Era Lebbeeka yalina mwannyina erinnya lye Labbaani; Labbaani n'afuluma n'adduka okusisinkana omusajja awali oluzzi.#Lub 25:20; 28:2 30Awo olwatuuka, bwe yalaba empeta, n'emisagga egyali ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya Lebbeeka mwannyina, ng'ayogera nti, “Bw'atyo omusajja bw'aŋŋambye,” n'ajja eri omusajja; era, laba, yali ng'ayimiridde mu mbiriizi z'eŋŋamira awali ensulo. 31N'ayogera nti, “Yingira ggwe Mukama gw'awadde omukisa; kiki ekikuyimirizza ebweru? Nteeseteese ennyumba, n'ekifo eky'eŋŋamira.”#Lub 26:29, Balam 17:2, Luus 3:10 32Omusajja n'ayingira mu nnyumba, n'asumulula eŋŋamira; n'aziwa essubi n'eby'okulya byazo, n'amazzi okunaaza ebigere bye n'ebigere by'abasajja abaali naye.#Lub 18:4; 43:24, Balam 19:21 33Ne bateeka emmere mu maaso ge alye: naye n'ayogera nti, “Siirye nga sinnayogera bye nnatumibwa.” N'ayogera nti, “Yogera.” 34N'ayogera nti, “Nze ndi muddu wa Ibulayimu. 35Era Mukama yawanga mukama wange omukisa mungi; era afuuse omukulu: era yamuwa embuzi, n'ente, ne ffeeza ne zaabu, n'abaddu n'abazaana, n'eŋŋamira n'endogoyi.#Lub 13:2 36Ne Saala mukazi wa mukama wange n'azaalira mukama wange omwana bwe yali ng'akaddiye; era oyo n'amuwa byonna by'alina.#Lub 21:2,10; 25:5 37Ne mukama wange n'andayiza, ng'ayogera nti, ‘Toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Abakanani, be ntuulira mu nsi yaabwe:#Lub 24:3 38naye oligenda eri ennyumba ya kitange, n'eri baganda bange, owasize omwana wange omukazi.’ 39Ne ŋŋamba mukama wange nti, ‘Mpozzi omukazi talikkiriza kujja nange.’ 40N'aŋŋamba nti, ‘Mukama, gwe ntambulira mu maaso ge, alituma malayika we wamu naawe, aliwa olugendo lwo omukisa; naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva mu baganda bange, ne mu nnyumba ya kitange;#Lub 17:1; 24:7 41bw'otyo tolibaako musango olw'ekirayiro kyange, bw'olituuka mu baganda bange; nabo bwe batalikuwa mukazi, ggwe nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange.’ ”#Lub 24:8
42“Leero ne njija awali oluzzi, ne njogera nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, bw'onoowa kaakano omukisa olugendo lwange lwe ŋŋenda,’#Lub 24:12,21 43laba, nnyimiridde awali ensulo y'amazzi; kale kibeere bwe kiti; omuwala anaafuluma okusena, gwe nnaagamba nti, ‘Ompe, nkwegayiridde, otuzzi mu nsuwa yo nnywe.’#Lub 24:13,14 44naye anaŋŋamba nti, ‘nywa ggwe, era nze naasenera n'eŋŋamira zo,’ oyo abeere oyo Mukama gwe yalagirira omwana wa mukama wange.” 45“Bwe mbadde nga nkyayogera mu mutima gwange, laba, Lebbeeka n'afuluma ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye: n'aserengeta ku nsulo, n'asena: ne mmugamba nti, ‘Nnywe, nkwegayiridde.’#Lub 24:15-17 46N'ayanguwa, n'assa ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n'ayogera nti, ‘Nywa, nange naanywesa n'eŋŋamira zo,’ ne nnywa, naye n'anywesa n'eŋŋamira.#Lub 24:18-20 47Ne mmubuuza nti, ‘Ggwe oli muwala w'ani?’ N'addamu nti, ‘Ndi muwala wa Bessweri, omwana wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Awo ne nnaanika empeta mu nnyindo ye, n'ebikomo ku mikono gye.#Kuv 16:11,12 48Ne nkutama, ne nsinza Mukama; ne nneebaza Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, eyannuŋŋamya mu kkubo ettuufu, ne ndabira mutabani we omukazi mu baana ba muganda we.#Lub 22:23; 24:26,27, Is 48:17 49Kale kaakano, oba munakkiriza okukolera mukama wange eby'ekisa n'eby'amazima, mmumbuulire. Oba temukkirize, era mmumbuulire, ndyoke nsalewo kye nnaakola.”#Lub 47:29, Yos 2:14 50Labbaani ne Bessweri ne balyoka baddamu ne boogera nti, “Ekigambo ekyo kivudde eri Mukama; ffe tetuyinza kubaako kyetwongerako oba okukikendeezako.#Lub 31:24, Zab 118:23 51Laba, Lebbeeka wuuyo, mutwale, mugende, abeere mukazi w'omwana wa mukama wo, Mukama nga bw'ayogedde.”#Lub 24:42-46 52Awo olwatuuka, omuddu wa Ibulayimu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'avuunama n'asinza Mukama.#Lub 24:26 53Omuddu n'aleeta amakula aga ffeeza n'aga zaabu n'ebyambalo, n'abiwa Lebbeeka; era n'awa ne mwannyina ne nnyina ebintu eby'omuwendo omungi. 54Awo omuddu wa Ibulayimu n'abasajja be yali nabo ne balya ne banywa, ne basula wo; enkya ku makya, n'ayogera nti, “Munsiibule ŋŋende eri mukama wange.” 55Naye mwannyina wa Lebbeeka ne nnyina ne bamuddamu nti, “Omuwala k'agira abeerako naffe ennaku ntono, gamba nga kkumi, oba okusingawo; alyoke agende.” 56Omuddu wa Ibulayimu n'addamu nti, “Temundwisa, munsiibule ŋŋende eri mukama wange; kubanga Mukama awadde olugendo lwange omukisa.” 57Nabo ne baddamu nti, “ Ka tuyite omuwala tumubuuze, tuwulire ky'agamba.” 58Awo ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, “Onoogenda n'omusajja ono?” N'addamu nti, “Nnaagenda.” 59Ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n'omulezi we, n'omuddu wa Ibulayimu, n'abasajja be yajja nabo.#Lub 35:8 60Ne basabira Lebbeeka omukisa, nga bagamba nti, “Mwannyinaffe, beeranga nnyina w'abantu emitwalo n'enkumi, n'ezzadde lyo liwangulenga abalabe baabwe.”#Lub 17:16; 22:17 61Awo Lebbeeka n'abazaana be ne basituka, ne beebagala ku ŋŋamira, ne bagenda n'omuddu wa Ibulayimu.
62Isaaka yali avudde e Beerirakairoi,#24:62: Beerirakairoi Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Oluzzi lw'Omulamu Andaba.” n'atuula mu bukiikaddyo obwa Kanani.#Lub 16:14; 25:11 63Awo Isaaka bwe yali ng'atambulatambulako akawungeezi mu nnimiro, n'alengera eŋŋamira nga zijja. 64Lebbeeka bwe yayimusa amaaso, n'alengera Isaaka, n'ava ku ŋŋamira. 65Lebbeeka n'abuuza omuddu wa Ibulayimu nti, “ Omusajja oyo atambula mu nnimiro ng'ajja gyetuli ye ani?” Omuddu n'addamu nti, “Ye mukama wange;” awo Lebbeeka n'addira olugoye lwe olubikka mu maaso ne yeebikkako. 66Omuddu n'abuulira Isaaka byonna bye yakola. 67Isaaka n'atwala Lebbeeka mu weema eyali eya Saala nnyina, okuba mukazi we. Isaaka n'amwagala; n'akubagizibwa, nnyina ng'amaze okufa.#Lub 23:2
Currently Selected:
Olubereberye 24: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: