YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 25

25
Abaana ba Ibulayimu abalala
1Awo Ibulayimu n'awasa omukazi omulala, erinnya lye Ketula.#1 Byom 1:32,33 2N'amuzaalira Zimulaani, Yokusaani, Medani, Midiyaani, Isubaki, ne Suwa. 3Yokusaani n'azaala Seeba, ne Dedani. N'abaana ba Dedani abasajja baali Asulimu, Letusimu, ne Lewumimu. 4N'abaana ba Midiyaani abasajja baali: Efa, Eferi, Kanoki, Abida, ne Eruda. Abo bonna bazzukulu ba Ketula. 5Ibulayimu n'awa Isaaka byonna bye yalina.#Lub 24:36 6Naye abaana be abalenzi abalala n'abawa ebirabo. N'abasindika okuva awali omwana we Isaaka, bwe yali ng'akyali mulamu, bagende mu nsi ey'obuvanjuba bwa Kanani.
Okufa kwa Ibulayimu
(1 Byom 1:32-33)
7Ibulayimu yawangaala emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano (175). 8Ibulayimu n'afa nga mukadde nnyo, n'aziikibwa ku butaka bwe.#Lub 15:15; 25:17, Balam 2:10 9Isaaka ne Isimaeri batabani be ne bamuziika mu mpuku eri e Makupeera, mu lusuku lwa Efulooni, omwana wa Zokali Omukiiti, olw'olekera Mamule; 10olusuku olwo abaana ba Keesi lwe baaguza Ibulayimu okuziikamu Saala mukazi we; era naye mwe baamuziika.#Lub 23:16-19 11Awo olwatuuka Ibulayimu ng'amaze okufa Katonda n'awa Isaaka omwana we omukisa; Isaaka n'atuulanga e Beerirakairoi.#Lub 24:62
Abaana ba Isimaeri
(1 Byom 1:28-31)
12Abaana ba Isimaeri, omwana wa Ibulayimu, Agali Omumisiri, omuzaana wa Saala gwe yazaalira Ibulayimu be bano nga bwe baddiŋŋanwako:#Lub 16:15 13omubereberye we ye Nebayoosi, ne kuddako Kedali, Adubeeri, Mibusamu,#1 Byom 1:29-31 14Misuma, Duma, Masa; 15Kadadi, Teema, Yetuli, Nafisi, ne Kedema. 16Abo be baana ba Isimaeri, bajjajja b'ebika ekkumi n'ebibiri, era amannya gaabwe gaatuumibwa ebyalo byabwe, n'ebifo mwe baasimba eweema zaabwe.#Lub 17:20 17Isimaeri n'afa ng'awangadde emyaka kikumi mu asatu mu musanvu (137); n'aziikibwa awali abantu be.#Lub 25:8 18Abaana ba Isimaeri ne batuula okuva e Kavira okutuuka e Ssuuli, okwolekera Misiri, ng'ogenda e Bwasuli; nga beesudde ku baana ba Ibulayimu abalala.#Lub 16:12, 1 Sam 15:7
Ebyafaayo by'abantu abaasibuka mu Isaaka (25:19—37:1)
19Bano be baana ba Isaaka, omwana wa Ibulayimu.#Mat 1:2 20Isaaka yali awezezza emyaka ana (40) bwe yawasa Lebbeeka, omwana wa Bessweri Omusuuli ow'e Padanalaamu. Labbaani ye yali mwannyina Lebbeeka.#Lub 24:24,29,67 21Isaaka ne yeegayiririra Mukama mukazi we, kubanga yali mugumba: Mukama n'awulira okwegayirira kwe, ne Lebbeeka mukazi we n'aba olubuto.#2 Sam 24:25, 1 Byom 5:20, 2 Byom 33:13, Ezer 8:23 22Abaana ne bawakanira mu nda ye; n'ayogera nti, “Bwe kiri bwe kityo kyenva mbeera omulamu kiki?” N'agenda okubuuza Mukama.#1 Sam 9:9; 10:22 23Mukama n'amugamba nti,
“Amawanga abiri gali mu lubuto lwo,
N'ebika ebibiri biryawukana n'okuva mu byenda byo:
N'eggwanga erimu linaasinganga eggwanga eddala amaanyi;
N'omukulu anaaweerezanga omuto.”#Lub 17:16; 24:60; 27:29,40, 2 Sam 8:14, Bar 9:12
24Awo ennaku ze bwe zaatuukirira okuzaala, laba ne baba abalongo mu lubuto lwe. 25N'omubereberye n'avaamu nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ekyambalo eky'ebyoya; ne bamutuuma erinnya lye Esawu.#25:25 Esawu Mu Lwebbulaniya litegeeza “Ow'ebyoya.”#Lub 27:11, Lub 22:18 26Muganda we n'amuddirira n'avaamu, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; n'erinnya lye ne bamutuuma Yakobo;#25:26: Yakobo Mu Lwebbulaniya litegeeza “Akwata ekisinziiro.” Oba “Alyazaamaanya.” era Isaaka yali awezezza emyaka nkaaga (60), mukazi we bwe yabazaala.#Lub 27:36, Kos 12:3 27Abalenzi ne bakula, Esawu n'abanga omuyizzi ow'amagezi, omusajja ow'omu nsiko; ne Yakobo yali musajja muteefu, eyatuulanga mu weema.#Lub 27:3,5 28Era Isaaka n'ayagala Esawu, kubanga yalyanga ku muyiggo gwe; ne Lebbeeka n'ayagala Yakobo.#Lub 27:4,7 29Yakobo n'afumba omugoyo; Esawu n'ayingira ng'avudde mu nsiko, ng'akooye nga talina maanyi: 30Esawu n'agamba Yakobo nti, “Ndiisa, nkwegayirira, omugoyo ogwo omumyufu; kubanga sirina maanyi.” Kyebaava bamuyita Edomu.#25:30 Edomu Mu Lwebbulaniya litegeeza “Omumyufu.” 31Yakobo n'ayogera nti, “Nguza leero eby'obukulu bwo.” 32Esawu n'ayogera nti, “Laba, mbulako katono okufa; n'eby'obukulu biringasa bitya?” 33Yakobo n'amugamba nti, “Ndayirira leero,” n'amulayirira, Esawu n'aguza Yakobo eby'obukulu bwe.#Beb 12:16 34Yakobo n'awa Esawu emmere n'omugoyo gw'ebijanjaalo; n'alya, n'anywa, n'agolokoka, n'agenda. Bw'atyo Esawu n'anyooma eby'obukulu bwe.

Currently Selected:

Olubereberye 25: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in