Olubereberye 29
29
Yakobo atuuka mu maka ga kojjaawe Labbaani
1Yakobo n'alyoka agenda ng'atambula, n'ajja mu nsi ey'abantu ab'ebuvanjuba.#Kubal 23:7, Balam 6:3 2N'atunula, era, laba, oluzzi mu nnimiro era, laba, ebisibo bisatu eby'endiga nga zigalamidde awo awali oluzzi; kubanga mu luzzi omwo mwe baanywesanga ebisibo; n'ejjinja eryali ku kamwa k'oluzzi lyali ddene. 3N'ebisibo byonsatule ne bikuŋŋaanira awo; ne bayiringisa ejjinja okuliggya ku luzzi, ne banywesa endiga, era ne bazza ejjinja ku luzzi, mu kifo kyalyo. 4Yakobo n'abagamba nti, “Baganda bange, muva wa?” Ne boogera nti, “Tuva Kalani.”#Lub 27:43 5N'ababuuza nti, “Mumanyi Labbaani omwana wa Nakoli?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.” 6N'ababuuza nti, “Mulamu?” Ne bamuddamu nti, “Mulamu; era, laba, Laakeeri muwala we ajja n'endiga.” 7N'ayogera nti, “Laba, kati ttuntu so obudde tebunnatuuka ensolo okukuŋŋaanyizibwa; munywese endiga, mugende muziriise.” 8Ne boogera nti, “Tetuyinza, ebisibo byonsatule nga tebinnakuŋŋaanyizibwa ku luzzi, tulyoke tunywese endiga.” 9Bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n'ajja n'endiga za kitaawe; kubanga yeyazirundanga.#Kuv 2:16 10Awo olwatuuka Yakobo bwe yalaba Laakeeri muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n'endiga za Labbaani, Yakobo n'asembera, n'ayiringisa ejjinja n'aliggya ku luzzi n'anywesa ekisibo kya Labbaani mwannyina nnyina.#Kuv 2:16 11Yakobo n'anywegera Laakeeri n'akaaba mu ddoboozi eddene ennyo. 12Yakobo n'abuulira Laakeeri nti ndi wa luganda ne kitaawo, ndi mwana wa Lebbeeka; Laakeeri n'adduka n'abuulira kitaawe.#Lub 13:8; 14:14 13Awo olwatuuka Labbaani bwe yawulira ebigambo bya Yakobo omwana wa mwannyina nga yazze, n'adduka najja okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera, n'amuyingiza mu nnyumba ye. Yakobo n'abuulira Labbaani ebigambo ebyo byonna.#Lub 24:29 14Labbaani n'amugamba nti, “Mazima ggwe oli ggumba lyange era omubiri gwange.” Yakobo n'abeera yo okumala omwezi gumu.#Lub 2:23, Balam 9:2, 2 Sam 5:2; 19:12,13
Yakobo aweereza Labbaani olw'okuwasa Laakeeri ne Leeya
15Labbaani n'agamba Yakobo nti, “Olw'okuba ng'oli muganda wange ky'onoovanga ompererezanga obwereere? Mbuulira, empeera yo eneebanga ki?” 16Era Labbaani yalina abawala babiri; erinnya ly'omukulu Leeya, n'erinnya ly'omuto Laakeeri. 17Ne Leeya amaaso ge gaali magonvu; naye Laakeeri yali mulungi n'amaaso ge nga gasanyusa. 18Yakobo n'ayagala Laakeeri; n'ayogera nti, “Nja kukuweereza okumala emyaka musanvu ompe Laakeeri muwala wo omuto.”#Lub 30:26; 31:41 19Labbaani n'ayogera nti, “Waakiri muwa ggwe okusinga okumuwa omusajja omulala.” 20Yakobo n'aweerereza emyaka musanvu aweebwe Laakeeri; ne gimulabikira ng'ennaku entono olw'okwagala kwe yamwagala.#Kos 12:12
21Yakobo n'agamba Labbaani nti, “Mpa omukazi wange muwase kubanga ennaku ze twalagaana ziweddeyo.” 22Labbaani n'akuŋŋaanya abantu bonna ab'omu kifo, n'afumba embaga.#Balam 14:10, Yok 2:2 23Awo olwatuuka akawungeezi n'addira Leeya omwana we, n'amumuleetera; ne yeegatta naye. 24Labbaani n'awaayo omuzaana we Zirupa, eri muwala we Leeya okuba omuzaana we 25Awo bwe bwakya enkya, Yakobo n'alaba nga ye Leeya; n'agamba Labbaani nti, “Kiki kino ky'onkoze? Ssaakuweereza lwa Laakeeri? Kale kiki ekikunnimbizza?” 26Labbaani n'addamu nti, “Ssi mpisa yaffe mu nsi yaffe eno, okufumbiza omuto okusooka omukulu. 27Sooka omaleko ennaku omusanvu ez'obugole ne Leeya, tulyoke tukuwe n'omulala, olw'okuweereza kw'ogenda okumpeereza nate okumala emyaka emirala musanvu.”#Balam 14:12 28Yakobo n'akkiriza, era ennaku omusanvu bwe zaggwaako, Labbaani n'amuwa muwala we Laakeeri okuba mukazi we. 29Labbaani n'awaayo ne Bira omuzaana we, okubeera omuzaana wa Laakeeri. 30Yakobo ne yeegatta ne Laakeeri, era n'amwagala nnyo okusinga Leeya, n'aweereza Labbaani nate, emyaka emirala musanvu.#Lub 30:26
Abaana ba Yakobo
31Mukama bwe yalaba nga Leeya yakyayibwa, n'asumulula olubuto lwe; naye Laakeeri yali mugumba. 32Leeya n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Lewubeeni;#29:32: Lewubeeni Mu Lwebbulaniya litegeeza, “Alabye okubonaabona kwange.” kubanga yayogera nti, “Kubanga Mukama atunuulidde ekibonoobono kyange; kubanga kaakano baze ananjagala.”#Kuv 3:7, Ma 26:7 33N'aba olubuto nate n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Kubanga Mukama yawulira nga nkyayibwa, era ky'avudde ampa n'omwana ono.” N'amutuuma erinnya lye Simyoni.#29:33: Simyoni Mu Lwebbulaniya litegeeza “yawulira.” 34N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Kale nno omulundi guno baze aneegatta nange, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi basatu.” N'amutuuma erinnya lye Leevi.#29:34: Leevi Mu Lwebbulaniya litegeeza “yeegasse.”#Kubal 18:2,4 35N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Omulundi guno nnaamutendereza Mukama;” kyeyava amutuuma erinnya lye Yuda;#29:35: Yuda Mu Lwebbulaniya litegeeza “Okutendereza.” n'alekera awo okuzaala.#Lub 49:8
Currently Selected:
Olubereberye 29: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.