Olubereberye 37
37
Yusufu ne baganda be
1Yakobo n'abeeranga mu nsi ya Kanani kitaawe mwe yatuulanga.
Ebyafaayo by'abantu abaasibuka mu Yakobo (37:2—50:26)
2Bino bye byafaayo bya maka ga Yakobo: Yusufu bwe yali nga awezezza emyaka kkumi na musanvu (17), yali ng'alunda ekisibo awamu ne baganda be, n'abanga wamu n'abaana ba Bira, n'abaana ba Zirupa, abakazi ba kitaawe. Yusufu n'aloopanga eri kitaawe ebibi bye baakolanga. 3Isiraeri yayagala Yusufu okusinga abaana be bonna, kubanga gwe yazaala ng'akaddiye; n'amutungira ekyambalo eky'amabala amangi.#2 Sam 13:18 4Baganda ba Yusufu ne balaba nga kitaabwe amwagala nnyo okubasinga bonna; ne bamukyawa, ne batayogera naye bya mirembe wabula eby'okuyomba. 5Yusufu n'aloota ekirooto, n'akibuulira baganda be; ne beeyongera nate okumukyawa. 6N'abagamba nti, “Mbeegayiridde, muwulire ekirooto kino kye nnaloose; 7Kale twabadde tusiba ebinywa by'eŋŋaano mu nnimiro, ekinywa ekyange ne kisituka, ne kyesimba. Ebinywa ebyammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa ekyange.”#Lub 42:6; 43:26; 44:14 8Baganda be ne bamugamba nti, “Olowooza olitufuga ggwe, oba olitutwala ggwe?” Ne beeyongera nate okumukyawa olw'ebirooto bye n'olw'ebigambo bye. 9N'aloota nate ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be n'ayogera nti, “Laba, nnaloose ekirooto ekirala; ng'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye ekkumi n'emu (11) nga binvuunamira.” 10N'akibuulira kitaawe ne baganda be; kitaawe n'amunenya, n'amugamba nti, “Kirooto ki kino kye waloose? Nze ne nnyoko ne baganda bo tulijja okukuvuunamira?” 11Baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye kitaawe n'akuumanga ebigambo ebyo bye yayogera.
Yusufu atundibwa e Misiri
12Awo baganda ba Yusufu bwe baali bagenze e Sekemu okulunda ekisibo kya kitaabwe; 13Isiraeri n'abuuza Yusufu nti, “Baganda bo tebalunda kisibo mu Sekemu? Jjangu nkutume gyebali.” N'amuddamu nti, “Nzuuno.” 14N'amugamba nti, “Genda kaakano olabe nga baganda bo gyebali balungi, era n'ekisibo nga gye kiri kirungi; okomewo ombuulire.” Awo n'amutuma okuva mu kiwonvu eky'e Kebbulooni, n'atuuka e Sekemu. 15Omusajja n'amusanga ng'atambuliratambulira mu ttale, n'amubuuza nti, “Onoonya ki?” 16Yusufu n'addamu nti, “ Nnoonya baganda bange; nkwegayiridde, mbuulira gye balundidde ekisibo.” 17Omusajja n'ayogera nti, “Baagenda, kubanga nnabawulira nga boogera nti, ‘Tugende e Dosani.’ ” Yusufu n'agoberera baganda be, n'abasanga mu Dosani. 18Ne bamulengera ng'akyali wala, era bwe yali nga tannabatuukako, ne beekobaana okumutta. 19Ne bagambagana nti, “Laba, ssekalootera wuuyo ajja. 20Kale nno mujje tumutte, tumusuule mu bumu ku bunnya, tulyogera nti, Ensolo enkambwe ye yamulya; ne tulyoka tulaba ebirooto bye bwe biriba.” 21Lewubeeni bwe yawulira ekyo n'afuba okuwonya Yusufu n'agamba nti, “tuleme okumutta.” 22Lewubeeni era n'agamba nti, “Temuyiwa musaayi. Mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumukolako kabi.” Yayogera bw'atyo ng'ayagala amuwonye, amuddize kitaawe. 23Awo olwatuuka, Yusufu bwe yatuuka eri baganda be, ne bamwambulamu ekyambalo kye eky'amabala amangi; 24ne bamutwala ne bamusuula mu bunnya obwali obukalu nga temuli mazzi. 25Bwe baali nga balya, ne bayimusa amaaso gaabwe, ne balengera ekibiina ky'Abayisimaeri abaava mu Gireyaadi nga batambula, nga balina eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'envumbo ne mooli, nga babitwala mu Misiri.#Lub 37:28,36; 39:1, Is 21:13 26Yuda n'agamba baganda be nti, “Kiritugasa kitya okutta muganda waffe n'okukisa omusaayi gwe? 27Kale tumutunde mu ba Isimaeri, ffe tuleme kumukolako kabi, kubanga muganda waffe, era musaayi gwaffe.” Baganda be ne bakkiriza.#Lub 29:14, 1 Sam 18:17 28Abasuubuzi Abamidiyaani bwe baali bayitawo, baganda ba Yusufu ne bamusika ne bamuggya mu bunnya, ne bamutunda mu ba Isimaeri abo, ebitundu by'effeeza abiri (20). Ne batwala Yusufu mu Misiri.#Lub 37:36; 45:4,5, Zab 105:17, Bik 7:9 29Lewubeeni bwe yaddayo awali obunnya, n'asanga nga Yusufu taliimu, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala.#Lub 44:13, Kubal 14:6, 2 Sam 1:11, Yob 1:20 30N'addayo eri baganda be, n'agamba nti, “Omwana taliiyo. Kale nze n'addawa?”#Lub 42:13,36, Yer 31:15 31Ne batta embuzi ennume ne bannyika ekyambalo kya Yusufu mu musaayi gwayo; 32ne baddira ekyambalo ekyo ne bakitwalira kitaabwe; ne bamugamba nti, “Twasanga ekyambalo kino. Kaakano laba oba nga kye kyambalo ky'omwana wo, oba si ky'ekyo.” 33Yakobo n'akitegeera, n'agamba nti, “Kye kizibawo eky'omwana wange; ensolo ey'omunsiko yamulya; awatali kubuusabuusa, Yusufu yataagulwataagulwa.”#Lub 44:28 34Yakobo n'ayuzaayuza engoye ze, ne yeesiba ebibukutu mu kiwato, n'akungubagira omwana we okumala ennaku nnyingi.#Lub 37:29 35Batabani be bonna ne bawala be bonna ne bajja okumugumya naye ne kitasoboka, n'abagamba nti, “Ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba.”#2 Sam 12:17 36Abamidiyaani ne bamuguza Potifaali mu Misiri; omwami wa Falaawo, era omukulu w'abambowa.#Lub 37:28; 39:1
Currently Selected:
Olubereberye 37: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: