YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 38

38
Yuda ne Tamali
1Awo olwatuuka mu biro ebyo Yuda n'ava mu baganda be n'agenda n'abeera n'omusajja Omwadulamu, erinnya lye Kira.#Lub 19:3, 2 Bassek 4:8 2Yuda n'alabayo omuwala w'Omukanani, erinnya lye Suwa, n'amuwasa;#Lub 46:12, 1 Byom 2:3 3N'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi; Yuda n'amutuuma erinnya Eri. 4N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya Onani. 5Era nate n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Seera; Yuda yali mu Kezibi, bwe yazaalibwa. 6Yuda n'awasiza Eri omwana we omubereberye omukazi, erinnya lye Tamali. 7Ne Eri, omubereberye wa Yuda, yali wa mpisa mbi mu maaso ga Mukama; Mukama n'amutta. 8Yuda n'agamba Onani nti, “Twala nnamwandu wa muganda wo Eri omuwase, nga bwe kigwanira, oddizzeewo muganda wo ezzadde.”#Ma 25:5-6, Mak 12:19 9Onani n'ategeera ng'ezzadde teririba lirye; awo olwatuuka bwe yeegatta ne nnamwandu wa muganda we, amazzi agazaala n'agafuka wansi, aleme okuwa muganda we ezzadde. 10Ekintu ekyo kye yakola kyali kibi mu maaso ga Mukama; n'oyo n'amutta.#Kubal 26:19 11Yuda n'alyoka agamba Tamali muka mwana we nti, “Beerera awo nnamwandu mu nnyumba ya kitaawo, okutuusa Seera omwana wange lw'alimala okukula.” Yayogera bw'atyo, kubanga yatya nti Seera naye ayinza okufa nga baganda be. Awo Tamali n'agenda n'abeera mu nnyumba ya kitaawe.#Leev 22:13, Luus 1:13 12Ekiseera nga kiyiseewo, muka Yuda, muwala wa Suuwa n'afa. Ebiseera eby'okukungubaga bwe byaggwaako, Yuda ne mukwano gwe Kira Omwadulaamu ne bambuka e Timuna, eri abasajja be abasalako endiga ebyoya.#Lub 24:67, 2 Sam 13:39 13Ne babuulira Tamali nti, “Laba, ssezaala wo ayambuka e Timuna okusala endiga ze ebyoya.” 14Tamali neyeyambulamu ebyambalo eby'obwannamwandu bwe, ne yeebikka olugoye olw'oku mutwe, ne yeewumba, n'atuula mu mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo erigenda e Timuna; kubanga yalaba nga Seera amaze okukula, ne batamumuwa okumuwasa.#Lub 38:11,26 15Yuda bwe yamulaba, n'alowooza nti mwenzi; kubanga yali yeebisse mu maaso. 16N'agenda gy'ali ku mabbali g'ekkubo, n'amugamba nti, “Nkwegayiridde ka nneegatte naawe.” Yayogera bw'atyo kubanga teyamanya nti ye muka mwana we. N'amuddamu nti, “Onoompa ki bw'oneegatta nange?”#2 Bassek 4:8, Ez 16:33 17N'ayogera nti, “Ndikuweereza omwana gw'embuzi ogw'omu kisibo.” N'ayogera nti, “Onoompa omusingo, okutuusa lw'oliguweereza?” 18N'amubuuza nti, “Musingo ki gwe nnaakuwa?” N'amuddamu nti, “Akabonero ko n'akajegere ko, n'omuggo gwo oguli mu mukono gwo.” N'abimuwa, ne yeegatta naye n'aba olubuto lwe. 19Tamali n'asituka n'agenda n'ayambulamu eky'okubikka ku mutwe, n'ayambala ebyambalo eby'obwannamwandu bwe.#Lub 38:14 20Yuda n'atuma mukwano gwe omwadulamu okutwalira omukazi omwana gw'embuzi n'okuggyayo omusingo gwe, naye n'atamulaba. 21N'alyoka abuuza abasajja ab'Enayimu nti, “Omukazi omwenzi abeera wano ku mabbali g'ekkubo ali ludda wa?” Ne bamuddamu nti, “Wano tewabawangawo mukazi mwenzi.” 22N'addayo eri Yuda, n'ayogera nti, “Simulabye; era n'abasajja ab'ekifo boogedde nti, ‘Wano tewabanga mwenzi.’ ” 23Yuda n'ayogera nti, “Gyetwalire, tuleme okukwatibwa ensonyi, kasita nnaweerezza omwana ogw'embuzi ogwo, naye ggwe n'otomulaba.” 24Awo olwatuuka emyezi ng'esatu bwe gyayitawo ne babuulira Yuda nti, “Tamali muka mwana wo yayenda; kati ali lubuto lwa bwenzi.” Yuda n'ayogera nti, “Mumufulumye bamwokye.”#Leev 21:9, Balam 19:2 25Bwe baamufulumya, n'atumira ssezaala we, ng'ayogera nti, “Omusajja nannyini bino ye yanfunyisa olubuto.” N'ayogera nti, “Nkwegayiridde, weetegereze ebintu bino by'ani: akabonero, akajegere n'omuggo?”#Lub 38:18, Lub 39:4 26Yuda n'abikkiriza, n'ayogera nti, “Ansinze nze okuba omutuukirivu; kubanga ssaamuwa Seera omwana wange.” Yuda n'ategatta naye nate mulundi gwa kubiri.#Lub 38:14, 1 Sam 24:17 27Awo olwatuuka entuuko ze ez'okuzaala bwe zaatuuka, ne kitegeerekeka nti agenda kuzaala balongo. 28Awo bwe yali anaatera okuzaala, omu n'afulumya engalo ze; omuzaalisa n'azikwata n'asiba akagoye akamyufu ku ngalo ze, ng'ayogera nti, “Ono ye asoose okufuluma.” 29Awo olwatuuka bwe yazzaayo engalo ze, muganda we n'afuluma; omuzaalisa n'ayogera nti, “Bw'otyo bw'owaguzza?” Kye yava amutuuma erinnya Pereezi.#38:29: Pereezi Mu Lwebbulaniya litegeeza “Kuwaguza.”#1 Byom 2:4 30Oluvannyuma muganda we n'afuluma, eyalina akagoye akamyufu ku ngalo ze; n'amutuuma erinnya Zeera.#38:30: Zeera Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Ekimyufu ng'emmambya.”

Currently Selected:

Olubereberye 38: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in