Olubereberye 39
39
Yusufu ne muka Potifaali
1Yusufu ne bamuserengesa mu Misiri; Potifaali, omwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa, Omumisiri, n'amugula ku ba Isimaeri, abaamuserengesaayo.#Lub 37:25,28,36 2Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n'aba n'omukisa; n'abeera mu nnyumba ya mukama we Omumisiri.#Lub 21:22; 28:15, 1 Sam 16:18; 18:14, Bik 7:9 3Mukama we n'alaba nga Mukama ali naye, era nga Mukama amuwa omukisa mu buli kye yakolanga.#2 Byom 26:5, Zab 1:3 4Potifaali n'asiima Yusufu, n'amufuula omuweereza we ow'enjawulo, n'amuwa okulabiriranga ennyumba ye, n'okukuumanga ebibye byonna. 5Awo olwatuuka bwe yamala okumufuula omulabirizi w'ennyumba ye, era owa byonna bye yalina, Mukama n'alyoka agiwa omukisa ennyumba ey'Omumisiri ku bwa Yusufu; omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, eby'omu nnyumba n'eby'omu nnimiro.#Lub 30:27 6Potifaali n'aleka byonna bye yalina mu mukono gwa Yusufu; n'atamanya bintu bye byonna, okuggyako emmere gye yalyanga. Yusufu yali mulungi nnyo mu ndabika, n'amaaso ge nga gasanyusa.#1 Sam 16:12 7Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omukazi wa mukama we n'atunuulira Yusufu; n'ayogera nti, “Weebake nange.” 8Naye n'agaana, n'agamba omukazi wa mukama we nti, “Laba, mukama wange tamanyi ebiri nange mu nnyumba, era yateeka byonna by'alina mu mukono gwange;#Lub 39:4 9tewali ansinga nze obukulu mu nnyumba muno; so teyasigaza kintu obutakimpa nze, wabula ggwe, kubanga oli mukazi we; kale nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n'okusobya ku Katonda?”#2 Sam 12:13, Zab 51:4 10Newakubadde ng'omukazi oyo yeetayiriranga Yusufu buli lunaku, naye Yusufu n'agaana okusula naye wadde okubeera naye. 11Awo olwatuuka mu biro ebyo, Yusufu n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye; nga tewali basajja balala mu nnyumba. 12Omukazi n'akwata Yusufu ekyambalo n'amugamba nti, “Weebake nange.” Yusufu n'aleka ekyambalo kye mu ngalo z'omukazi n'adduka n'afuluma ebweru.#Nge 7:13,18 13Awo olwatuuka, omukazi bwe yalaba Yusufu ng'alese ekyambalo kye mu ngalo ze, naye n'adduka n'afuluma ebweru. 14Omukazi n'alyoka ayita abasajja ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti, “Mulabe, baze yaleeta muno Omwebbulaniya okutujooga; ayingidde gye ndi okunsobyako, ne ndeekaana nnyo. 15Awo olutuuse, bw'awulidde nga ndeekaana nnyo n'aleka ekyambalo kye mu ngalo zange n'adduka n'afuluma ebweru.” 16Omukazi n'atereka ekyambalo kya Yusufu okutuusa mukama we lwe yakomawo eka. 17N'amubuulira ebigambo bye bimu nti, “Omuddu Omwebbulaniya gwe watuleetera, yayingira gye ndi n'agezaako okunsobyako. 18Awo olwatuuka, bwe nnaleekaana ennyo n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi, n'adduka n'afuluma ebweru.” 19Mukama we bwe yawulira ebigambo bya mukazi we bye yamugamba Yusufu bye yakola; obusungu bwe ne bubuubuuka. 20Potifaali n'atwala Yusufu mu kkomera, ekifo abasibe ba Kabaka mwe basibirwa n'abeera omwo.#Lub 40:3,5; 41:14, Zab 105:18 21Naye Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n'amukwatirwa ekisa, n'amuwa okusiimibwa mu maaso g'omukuumi w'ekkomera.#Lub 39:2,4, Kuv 3:21; 11:3; 12:36, Zab 106:46, Dan 1:9, Bik 7:10 22Omukuumi w'ekkomera n'akwasa Yusufu abasibe bonna okubalabiriranga, era n'amuwa obuvunaanyizibwa ku buli kintu ekikolebwa mu kkomera.#Lub 40:4 23Omukuumi w'ekkomera teyatunuulira kintu ekyali wansi w'omukono gwa Yusufu, kubanga Mukama yali wamu ne Yusufu, n'ebyo bye yakola Mukama n'abiwa omukisa.#Lub 39:2,3
Currently Selected:
Olubereberye 39: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: